Bya Ssemakula John
Kawuga – Kyaggwe
Abantu ba Kabaka mu ggombolola ya Mutuba IV Kawuga nga bakulembeddwamu Bannankobazambogo bakoze Bulungibwansi n’ekigendererwa eky’okutumbula obuyonjo mu biseera bino eby’enkuba efudemba buli lukya.
Amyuka ssentebe wa Bulungibwansi mu ssaza Kyaggwe, Kefa Mubiru agamba ng’ essaza baatandikawo enkola y’okugenda wansi mu byalo okukunga abantu okwenyigira mu Bulungibwansi n’ekigendererwa okutumbula obuyonjo mu bitundu byabwe gye babera.
Mubiru ategeezezza nti ku luno basazeewo okukola n’abavubuka ba Nkobazambogo abali mu matendekero ku kyalo Buguju ekisangibwa mu Mukono central Division okusobola okubunmyisa enkola lya Bulungibwansi mu ssaza lye Kyaggwe.
Ye akulembeddemu Bannankobazambogo Martha Nanjuki agamba nti basazewo okukola bulungibwansi n’ekigendererwa eky’okukuuma obutondebwensi wamu n’Obuyonjo mu bantu n’ebifo gyebawangaalira.
Nanjuki agamba bagenda nokutalaga amatendekero age njawulo okulaba nga bakunga abayizi okwegatta ku kibiina kya Nkobazammbogo wamu no kwe nyigira mu kukola bulungibwansi.