Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi y’Ebidduka mu ggwanga efulumizza alipoota eraga nti abantu 134 bebafiiridde mu bubenje ku nguudo mu wiiki 2 eziyise nebaweza omugatte gw’abantu 269 abafudde mu mwezi gwa January.
Bw’abadde ayogerako eri eggwanga, Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka, ASP Farida Nampiima agambye nti mu wiiki 2 eziyise wabaddewo obubenje 705 okwetoloola eggwanga lyonna.
“Okuva January 15 ne January 21, obubenje bubadde 345 okwetoloola eggwanga era abantu 65 bebafiiriddemu ate 285 nebafuna ebisago.Wakati wa January 22 ne January 28 obubenje bwali 360 era bwatta abantu 69 ate 279 nebafuna ebisago ebyamaanyi,” Nampiima bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Nampiima obubenje 123 ku buno bwali ddekabusa ate 380 bwali bwamaanyi ate obulala bwali busaamusaamu.
Nampiima agamba nti okusinga obubenje buno bwavudde ku kuvugisa kimama, okumala gayisa awamu n’okuvuga emmotoka eziri mu mbeera embi.
Kino kitegeeza nti abantu 269 bebafiiridde mu nnaku 28 mu mwezi gwa January mu mwaka 2023.
Nampiima asabye abantu okukozesa obulungi enguudo era bateeke ekitiibwa mu bubonero bw’oku nguudo wamu n’okussa ekitiibwa mu mateeka g’oku nguudo.