Minisitule y’amazzi n’obutonde bwensi yakusengula abantu 170,000 okuva ku mbalama z’ennyanja Nalubaale wamu n’entobazi endala okwetooloola eggwanga.
Bwabadde ayogerako ne Bannamawulire mu Kampala, Alfred Okot Okidi, Omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule eno, yategeezezza nti okusengula kuno kugenderddwamu kussa munkola kiragiro kya pulezidenti Museveni kyeyawa nga April 21 okusengula buli muntu eyeesenze ku ttaka lya gavumenti nga ku mbalam z’ennyanja, emigga, entobazi, ebibira; okuggyibwamu lwampaka.
Abantu abagenda okusinga okukosebwa bali mu Kampala, Jinja, Mukono n’Entebbe naddala mu bitundu by’e Nammiro, Lugonjo ne Nakiwogo.
Kamisona avunaanyizibwa kukuuma entobazi, Collins Olanya, agambye nti okumala emyaka 25 babadde basomesa abantu obuteesenza mu ntobazi n’olwekyo tebayinza kwekwasa nti tebamanyi.
Yayongeddeko nti abantu bakimanyi nti kimenya mateeka okukolera emirimu egitakkirizibwa mita 200 okuva ku nnyanja.
Okidi era yategeezezza nti balagidde ekitongole ekikola ku mazzi ekya National Water and Sewerage Corporation wamu n’ekyamasannyalaze ekya Umeme, okusalako abantu bano basobole okuva mu kitundu kino.
Amazzi mu nnyanja Nalubale geeyongedde okuva mu 2019 olw’obungi bw’enkuba wamu n’emigga 23 egiyiwa munnyanja eno.
Emigga gino okuyiwa obutereevu mu Nalubale kiddiridde okusaanyaawo entobazi n’ebibira amazzi gyegawagamira.
Okidi yategeezezza nti akakiiko akaliko abantu okuva mu minisitule ez’enjawulo kaateereddwawo okusobola okusalira ekizibu ky’okubimba kw’ennyanja amagezi.
Akakiiko kano akakulirwa Ssaabaminisita Livingstone Ruhakana Rugunda, katulwako aba minisitule y’ettaka, enguudo, amazzi, amasannyalaze n’endala.
URN