
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abalung’amya b’emikolo basabiddwa okubeera n’obwasseruganda bulijjo okusobola okugenda mu maaso wamu ne mu kiseera kino nga beetegeka okulonda obukulembeze bwabwe obubatwala mu Buganda.
Okusaba kuno kukoleddwa Ssentebe w’Olukiiko olugenda okukubiriza okulonda kuno, Grace Nansubuga Lubowa bw’abadde atongoza enteekateeka y’okulonda kuno mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Era abasabye bulijjo okukuuma ekifaananyi ky’Obwakabaka, ennono n’obuwangwa wakati nga bakola emirimu gyabwe beewale okwerumaaluma.
Mu musomo ogusembyeyo, Minisita avunaanyizibwa ku buwangwa, ennono n’obuwangwa, Owek. Kyewalabye Male abanjulidde olukiiko olugenda okubiriza okulonda kuno wadde nga kuzze kwongezebwayo olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekyatabangula buli kimu mu ggwanga.
Kitegeerekese nti aboogezi b’emikolo abakeewandiisa wansi w’Obwakabaka bali 624 era be basuubirwa okwetaba mu kulonda kuno.
Ssentebe w’abalungamya bano Hannington Ssonko asabye banne okukuuma empisa mu kulonda kuno era bafube okubeera abeerufu.
Abalung’amya bano baweereddwa ekiwandiiko ekigenda okubalambika nga balonda abakulembeze baabwe era okusinziira ku kiwandiiko, kakuyege yenna alina kutandika nga January 26, 2022 okutuuka nga February 8, 2022.
Ekiwandiiko kino era kirambika bulungi obukwakkulizo obuteekeddwa ku muntu yenna ayagala okwesimbawo okusobola okuteekawo obwenkanya.









