Bya Gladys Nanyombi ne Gerald Mulindwa
Bulange
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza nti ekivuddeko emivuyo egyalabiddwa mu kulonda kw’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) n’ebibiina ebirala, kwe kuba nga tebakyalina bwesige mu nteekateeka ya kulonda munda mu bibiina n’okulonda kw’eggwanga lyonna.
Mayiga okwogera bino yabadde akoona ku by’agamba nti bye byavuddeko emivuyo mu Kamyufu. Okwogera bino yabadde asisinkanye amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM, Godfrey Kiwanda Ssuubi ne bannakibiina abaamukyaliddeko mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.
“Ekivaako obusambattuko lwakubanga abalonzi tebakyalina bwesige mu abo abalondesa. Ate era n’embeera yonna ey’okulonda babeera tebagirabamu mazima na bwenkanya.”Katikkiro Mayiga bwe yategeezezza
Katikkiro Mayiga yalambuludde nga abeesimbawo mu Kamyufu ka NRM bwe baalabibwako nga bagabira abantu ssente n’abasaba okukimanya nti Uganda yeetaaga eby’obufuzi eby’emirembe ng’abantu beerondera abantu be beesimidde.
Mayiga yawabudde nti singa okulonda kubeera kumaamiddwa vvulugu nga n’abavuganya tebakkirizibwa kukuba nkung’aana, tewali ngeri balonzi bwe bayinza kukkiriza biva mu kulonda kwa ngeri eno n’asaba kino kitunulwemu.
Yasabye ekibiina ekiri mu buyinza okubeera eky’okulabirako olwo kyanguyire ebibiina ebirala okubatwala ng’ekyokulabirako.
“Eky’obugagga NRM ky’esaana okulekera Uganda, kwe kulaba nti okulonda mu bibiina munda okutandikira ddala mu NRM ne mu kulonda okwa Uganda yonna kubeera kwa mirembe, kw’amazima kwa Bwenkanya.” Owek. Mayiga bwe yalambuludde.
Katikkiro yabasabye bakimanye nti buvunaanyizibwa bwabwe okutegeka okulonda mu mirembe ne mu bwenkanya kyanguyire ebibiina ebirala okugoberera.
Ono yasabye abeesimbyewo baveeyo balage bye bagenda okukolera abantu olwo bakole okusalawo okutuufu ku ani gwe baagala okuwa akalulu kaabwe.
Yakiggumiza nga bwe batagenda kuwanda ddusu ku muntu wabula n’abasaba baveeyo balage we bayimiridde ku nsonga Ssemasonga eza Buganda ettaano.
“Twagala omwana wa Kabaka aveeyo nti nze Ssemasonga ettaano nti ng’enda kuzikwata bwenti, tuzikutte bwetuti kuba nabagambye nti ffe buli omu assa mu nnono yaffe ne mu Kabaka ekitiibwa tumwaniriza.” Mayiga bwe yagasseeko.
Mayiga yeebazizza Pulezidenti Museveni ku ky’okuzza emmotoka ya Ssekabaka Muteesa II eya Rolls Royce wabula n’ategeeza nti kino tekigenda kubalemesa kubanja emmotoka essatu endala.
Ono yasabye gavumenti okukwasizaako Buganda okusobola okuddaabiriza emmotoka eno kubanga akimanyi bulungi nti gavumenti ya Uganda y’evunaanyizibwa ku kwonooneka kwayo.
“Twagala tuzeewo emmotoka eno era tusaba gavumenti okutukwatirako ku mulimu gw’okugiddabiriza wabula kino tekitukugira kubanja “Benteri” Namasole, Sarah Nalule mwe yatambuliranga ne Rolls Royce endala ennya ezaawambibwa.” Mayiga bwe yasabye.
Mukuumaddamula yakulisizza Minisita Kiwanda olw’okulondebwa nga omumyuka wa Ssentebe wa NRM n’ategeeza nti amutaddeko amaaso okulaba engeri gy’atambuzaamu emirimu.
Ye Minisita Omubeezi ow’ebyobulamuzi Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetonze olwa vvulugu eyali mu kamyufu ka NRM n’ategeeza nti ebyatuukawo baali bagezaako okuteeka mu nkola emu ku mpagi za NRM ey’okunnyikiza demokulaasia.
Kiwanda yagambye nti olw’ensonga nti olutalo olwaleeta NRM mu buyinza lwasinga kulwanirwa mu Buganda, Buganda yafuuka obuvo era obuddo bwa NRM.
Ono okukyala embuga yawerekeddwako abantu ab’enjawulo okuli; Magrate Nantogo Zziwa , Faridah Nambi , Ruth Nankabirwa ne Rogers Mulindwa.