
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akalaatidde gavumenti okukola enguudo mu Buganda kubanga Abasuubuzi b’emmwanyi bakaluubirizibwa okuzituusa ku katale olw’enguudo embi.
Owek. Nsibirwa bino abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna bwabadde atikkula Oluwalo okuva mu Bannabuddu n’Abantu ba Kabaka abava e Ssese olusobye mu bukadde 15.
Owek. Waggwa agambye nti gavumenti esaana okukola enguudo eziri mu bitundu ebirima oba okubaamu emirimu ezivaamu ensimbi ennyingi nga amafuta, emmwaanyi n’ebirime ebirala kisobozese abalimi okwanguwa okufuna akatale.
Ono annyonnyodde nti okulima, okususnsula, n’okunywa Kkaawa ava mu Mmwanyi kikoze kinene nnyo okulwanyisa obwavu mu Buganda era eggwanga litunda ensawo obukadde 6 obw’Emmwanyi za kasse nga 5 za Robusta ate nga 1 z’Emmwanyi z’e Mbale era ku mmwanyi za Kase obukadde 5, ebitundu 60 ku buli 100 ziva mu Buganda.

Owek. Nsibirwa akubirizza abalimi b’emmwanyi, abazisuubula n’abazisunsula okubeera ab’amazima mu bigambo nemu bikolwa nga yengeri yokka abantu gyebagenda okubeesigamu olwo bafune mu mulimu gwabwe.
Ye Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek Joseph Balikuddembe Kawuki akubirizza abalimi naddala abantu ba Kabaka abavudde e Ssese okwongera amaanyi mu kulima emmwanyi okukira ku birime ebirala byonna okusobola okutumbula embeera zabwe.
Ab’e Buddu nga bakulembeddwamu Mmeeya wa Kalungu Ttawuni Kkanso, John kiragga era nga ye ssentebe w’abasuubuzi b’Emmwanyi e Buddu boogedde byebatuuseeko mu kibiina kyabwe ekya Buddu coffee Processors Mmwanyi Terimba era bawadde abavubuka bangi emirimu.
Ate Omumyuka wa Pookino owookubiri Payineto Yiga agamba nti ekibiina kyabwe baakitandika oluvannyuma lw’okusomesebwa mu nteekateeka ya Mmwanyi Terimba era nga beetegegefu okwongera omutindo ku Mmwanyi.
Wabula balaze okusomoozebwa kwebayitamu naddala mu by’entambula okuva Katonga lweyagwamu nga n’enguudo endala ziri mu mbeera mbi kyebagamba nti kibataataaganya mu kutambuza emmwanyi okuziteeka ku katale.
Era balaajanidde Obwakabaka okubawa endokwa z’Emmwanyi ezigumira akawuka ezaabasuubizibwa embuga basobole okwongera okulaakulana.
Obwakabaka nga buyita mu kitongole ki BUCADEF butegeezezza nti amasaza gonna gagenda okutandika okubeera n’Emmeresezo ezivaamu endokwa z’Emmwanyi ezitalumbibwa kawuka nga zino zezigenda okugabibwa mu masaza gonna okwetoloola Buganda.









