Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abantu ba Kabaka abaliko obulemu nga bayita mu kibiina ekibagatta ki Buganda Disability Council nabo baguze emijoozi okusobola okwetaba mu misinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka ag’omwaka 2023 mu Lubiri e Mmengo ku Ssande eno.
Emijoozi gino Katikkiro Charles Peter Mayiga yagibakwasizza mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nabeebaza olw’okuwagira enteekateeka eno.
Bano babadde bakulembeddwamu Kakembo Augustine, Omukiise ku Bboodi y’Obwakabaka ey’Ekikula ky’Abantu.
Owek. Mayiga asinzidde wano nasaba abantu okukomya okuyita abaliko obulemu abalema kuba kubanga bano balina bangi bebasinga ebintu bingi oba olyawo nabo abalina buli kimu mikono, magulu maaso nebirala.
Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma Minisita wekikula kyabantu mu Buganda agamba nti nebwoba toosobole kudduka naye ngoguze omujoozi, ensonga enkulu yakutuusa bubaka eri abantu okulwanyisa Mukenenya.
Mu ngeri yemu Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Haji Prof. Twaha Kawaase Kigongo minisita avunanyizibwa ku ntambuza yemirimu mu Buganda era Ssentebe wolukiiko okuteekateeka emisinde gyomwaka guno akwasizza aba Mother’s Union n’Abalungamya bemikolo emijoozi nabo okwegata ku mulanga gwa Beene
Owek. Kaawaase alozeseza omukisa guno nakunga aba Mother’s Union okulwanyisa omuze gwekivve mu baana ate abalingamya bokumikolo okugulwanyisa.
Ye Pulezidenti wa Mother’s Union, Nnaalongo Roseline Bingi Kawiso alaze obweralikirivu olwa mukenenya okweyongera ennyo mu bafumbo nga nabwekityo kibadde kibakakatako okujjumbira enteekateeka eno.
Kinajjukirwa nti olunaku olw’enkya gemazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka agemyaka 68 kyokka emisinde gyakubaawo nga 16 kafuumulampawu 2023 era ng’omulamwa guli ku kulwanyisa mukenenya ngabasajja bebasaale okutaasa abaana ab’obuwala .