Bya Musasi waffe

Abatuuze abali mu disitulikiti ekkumi omudumu gw’amafuta gyegugenda okuyita sibasanyufu eri gavumenti n’amakampuni agali ku mulimu guno olw’okulwawo okusasulwa. Nga basinziira munkiiko ez’enjawulo ezategekeddwa ekitongole ekikola ku bya mafuta muggwanga ekya Petroleum Authority of Uganda, abatuuze mu disitulikiti za Buganda musanvu omuli, Rakai, Sembabule, Mubende, Kyankwanzi, Lwengo, Gomba ne Kyotera saako ne ssatu eziri mu Bunyoro, Hoima, Kikuube ne Kakumiro, baategeezeza nti baawerwa dda obutaddamu kukozesa ttaka lyabwe omudumu wegugenda okuyita kyokka ate nga tebawebwa ssente zaabwe kusenguka.
“Nali nzimba enyumba yange nebanyimiriza n’okutusakati tewali kigenda mumaaso. Lwaki temutusasula netusenguka,” bwatyo Leokadia Nandawula, omutuuze mu ddisitulkiti ye Gomba bweyategeezeza. Ate ye Lubega Benedicto owe Sembabule yebuuzizza emitendera egyayitibwamu okugereka emiwendo gy’ebintu nga emmwanyi ebigenda okutemebwa okuyisaawo omudumu. “Lwaki omummwanyi omuto togusasula sente zezimu ng’omukulu? Naye eyo teyandibadde nsonga nene nnyo singa n’obusente bwaffe obwo obutono mubutusasula,” Lubega bweyagambye. Bano baawagiddwa abakulembeze baabwe ab’enjawulo.
“Mwagala abantu bakoleki, tebakyasobola kulimira mubibanja byabwe oba okubaako ekintu ekirala kyonna kyebakola. Tusaba muleme kulwa munsonga eno kubanga enyigirizza nnyo abantu baffe,” bwatyo Francis Kibuuka Amooti Bazigattirawa, ssentebe wa disitulikiti ye Mubende bweyategeezeza. Yye munne atwala disitulikiti ye Kakumiro Joseph Sentayi Senkusu, yekokkodde ekibba ttaka ekyeyongedde ennyo mukitundu kye oluvanyuma. “Ababbi b’ettaka bakolagana n’abakungu mu minisitule y’ebyettaka okujingirira ebyapa olwo nebalyoka baagala okusengula abantu baffe. Obuzibu bwetulina nti ettaka erisinga obunene mu ssaza lino erya Bugangayizi teririna byapa,” Senkusu bwe yategeezeza. Bugangayizi ne Buyaga, gaali masaza ga Buganda okutuuka mu 1964 oluvanyuma lw’akalulu k’ekikungo akategekebwa gavumenti ya Milton Obote okusalawo negadda e Bunyoro. Newankubadde gadda e Bunyoro, ettaka mu masaza gano g’ombi erisinga obungi bannanyiniryo Baganda wabula nga tebakyabeerayo (Absent landlords). Gavumenti ya Uganda yateekawo ensawo y’okusasula bannanyini ttaka bano emanyiddwa nga Land Fund, wabula n’okutuusa kat, kino tekikolebwanga. Akulira ekitongole ekikola ku by’amafuta muggwanga, Ernest Rubondo yategeezeza nti baluddewo okusasula abantu kubanga omukungu wa gavumenti akola ku ky’okubaalirira abalina okusasulwa abadde akyekennenya alipoota eyakolebwa kwabo abalina okusasulwa. “Omuntu okusasulwa wabaawo emitendera egirina okugobererwa okusobola okwewala enkayana ezaabuli kika. Njagala okukakasa abantu baffe nti ensonga zino zikolwako era mu bwangu ddala abantu bonna baakusasulwa,” Rubondo bweyategeezeza. Omudumu gwa mafuta guno oguweze obuwanvu bwa kilomita 1443, okuva e Hoima mu Bunyoro okutuuka kulubalama lwa Ssemazinga Indian Ocean mukibuga Tanga muggwanga lya Tanzania, gwe gugenda okusinga obuwanvu munsi yonna.