Musasi waffe
Ab’olulyo Olulangira bennyamivu olw’emisinde ettaka ly’embiri n’amasiro kweritundibwa abo balina obuvunanyizibwa okulirabirira.
Bwebadde basisinkanye Katikkiro, Charles Peter Mayiga mu Butikkiro, amaka amatongole ag’obwakatikkiro, Abakulira emituba mu lulyo Olulangira nga bakulembeddwamu Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe, bategeezezza nti olw’okubulwawo abalabirira, abakuuma ebifo by’ennono bino babitunze okubimalawo.
“Tulina okusoomoozebwa kw’okutunda embiri n’amasiro ga Basekabaka. Abakuumi abamu baakyusa ebyapa nebidda mu mannya gaabwe. Bwemugenda mu kkooti obujulizi buba butono. Twagala okulaba engeri gyetuddamu okutereeza ebintu ebyo,”bwatyo Ssaabalangira Musanje bweyategeezezza.
Yagasseeko nti okutundibwa kw’ettaka kunafuyizza nnyo olulyo Olulangira.
“Ebitongole ebirina okubeera mu masiro tebiriiyo olw’obutaba nabusobozi balabirira ate n’ebika ebirina okutuwa abantu bano birina enkayana zaabwe,” Musanje bweyagambye.
Mu kwanukula, Katikkiro yagambye nti okutundibwa kw’ettaka ly’amasiro kikolwa kikyamu kubanga kinafuya essiga ekkulu ennyo mu Bwakabaka.
“Olw’okubanga Olulyo Olulangira lweruvaamu Kabaka, Obuganda bulina welussa olulyo lwammwe. N’olwekyo, ku mulembe guno Omutebi, Omulangira n’Omumbejja alina okubaako ebintu byasoosowaza akuume ekitiibwa ky’olulyo,” Mayiga bweyagambye.
Yasuubizza okukola ku nsonga zonna eziruma Ab’olulyo Olulangira ng’akwatira wamu ne Ssaabalangira.
“Enkolagana eno gyetulina ejja kutuyamba bulungi…Ensisinkano bweti etuyamba okuwanyisiganya ebirowoozo ku butya bwetunazza Buganda ku ntikko,” Mayiga bweyagambye.
Yasiimye nnyo Ssabalangira Musanje Kikulwe olw’engeri gyatambuzaamu obuvunanyizibwa Kabaka bweyamukwasa okumulamulirako Olulyo Olulangira.
Abalangira balina emituba egitambula 38 wabula akusinziira ku Kikulwe gyandibadde 56 kyokka nga egimu tewali abantu baagyo bamanyiddwa.