Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabalangira wa Buganda, Godfrey Musanje Kikulwe, aweze ku lw’Abalangira n’Abambejja kwongera amaanyi mu kuteeka mu nkola okulambiika kwa Ssaabasajja okwokulwanyisa obulwadde bwa Sirimu, kiyambeko okukendeeza obulwadde buno mu bantu.

Okuwera kuno Ssaabalangira akukoze aggalawo olukiiko lw’Olulyo Olulangira olw’omwaka guno olutudde ku Kigango kyabwe e Mmengo enkya ya leero ku Lwokuna okulaba bye basobodde okutuukako.
“Omulimu guno si gwa Ssaabasajja yekka naye n’Olulyo Olulangira wamu n’abantu abalala bonna tulina okulaba nga tumukwasizaako okulwanyisa ekirwadde kino.” Ssaabalangira Musanje bw’agambye.
Asabye nti wadde amaaso abantu bagatadde ku Ssennyiga Corona naye basaanye okujjukira nti Mukenenya akyaliyo era bafube okulaba nga bamutangira.
Bano era baliko enteekateeka ze banjudde okuteekawo eggwandiisizo eryawamu, kimalewo okusika omuguwa mu lulyo Olulangira.
Ssaabalangira asinzidde wano n’akubiriza Abalangira okuyambako mu nteekateeka ey’okukuuma ettaka lyabwe n’ebifo ebyenkizo ebitandise okwesenzaako abantu awatali kufuna lukkusa kuva mu bantu balivunaanyizibwako.
Ono alaze obwetaavu bw’okuteekawo ensawo y’Olulyo Olulangira eneeyamba singa wanaabaawo obwetaavu era kibayambe okusobola okwekulaakulanya. Asuubizza nti mu bwangu bagenda kuzimba ekigango kyabwe, kisobole okutuukana n’omutindo.
Abalangira n’Abambejja era baagala okuteeka ekibumbe eky’enjawulo ku luguudo ekiggyayo obulungi akabonero k’Olulyo Olulangira.
Ssaabalangira Musanje aweze okwongera okukumaakuma Abalangira basobole okwewala ebibawula era ng’asuubira nti eggwandiisizo ligenda kubayamba okulambika kino.
Olukiiko luno lwetabiddwamu Abalangira abakulira Amasiga nga bano baweereddwa endokwa z’emiti ez’okusimba okwongera okukuuma obutonde bw’ensi.









