Bya Ssemakula John
Kampala
Abakulira ekitavvu ki National Social Security Fund (NSSF) bagaanye okulekulira nga bwebaali balagiddwa Palamenti nebategeeza nti kati balinze kiva mu lukiiko lwaba minisita kuba tebalina musango.
Kino kiddiridde akakiiko ka Palamenti akateekebwawo okutunula mu mivuyo gya NSSF okusemba eky’ abakulu mu kitavvu kino okulekulira emirimu gyabwe olw’okukozesa obubi woofiisi zabwe nebazannyira mu ssente z’abakozi.
Bw’abadde ayogera ku alipoota ebalumiriza, ssentebe w’olukiiko oluddukanya ekitavvu kino, Peter Kimbowa agambye nti alipoota eno yali ewa magezi nga tekibakakatako kulekulira.
Ye akola nga Ssenkulu wa NSSF, Patrick Ayota ategeezezza nti ebibogerwako si bituufu era bigendereddwamu kwonoona mannya gabwe.
“Alipoota ya Palamenti ewa magezi. Erina okugenda eri olukiiko lwa baminisita nebagitunulamu oba erimu eggumba. Kyebanasalawo kyetujja okugenderako naye nga tebanaba kusalawo tulina okusigala nga tutambuza emirimu,” Ayota bw’ategeezezza.
Ayota agasseeko nti ne ssente obuwumbi 6 n’obuwumbi 1.8 ezongerwako mu alipoota nti zabbibwa weziri tezibulangako.
Ono annyonnyodde nti mu myaka 20 egiyise NSSF yeeyongedde okukula era omwezi gwa January 2023 wegwatuukidde nga ekitavvu kino kirina ensimbi eziwera obusse 18.2 (18.2 trillion).
Kati ekirindiriddwa kwekulaba oba olukiiko lwaba minisita lunaasemba ebyasaliddwawo akakiiko k’omubaka Mwine Mpaka.