Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abakulira amasomero g’Obwakabaka okuli: Lubiri High School e Mengo; Lubiri High School e Buloba, ne Bbowa Vocational Secondary School, e Bbowa mu Bulemeezi, banjudde ebyavudde mu bigezo bya Siniya Ey’okuna ebyafulumiziddwa wiiki ewedde era nebawera okwongera okukola ennyo nga babangula abaana ba Buganda.
Bano ebyavudde mu bigezo bya ‘Uganda Certificate of Education, 2022’ babikwasizza Minisita w’ebyenjigiriza mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma mu Bulange e Mmengo ku Mmande nabeebaza olw’okuyisa obulungi abayizi.
Era minisita Nankindu abasabye okwongera amaanyi mu masomo ga Saayansi (Physics, Biology, Chemistry n’amalala) bongere okugayita obulungi kibayambe okufulumya abayizi abali ku mutindo era abayaayaanirwa ku mutendera oguddako.
Owek. Nankindu era asabye amasomero gano okubeera amasaale mu kutumbula olulimi Oluganda era balwagazise abayizi .
Essomero lya Ssaabasajja erya Lubiri High school ettabi erye Buloba ku bayizi 145 abatuula ebigezo abayizi 78 bayitira mu ddaala lisooka, ate abayizi 56 nebayitira mu ddaala eryokubiri nabalala mu liddako kyokka nga ku bano 137 baali basomers ku nsawo ya Kabaka Education Fund (KEF).
Ate essomero lya Lubiri High School mu lubiri e Mmengo, abayizi bayitira waggulu nga ku bayizi 163 abakola ebigezo, 55 bayitira mu ddala erisooka , 56 mu lyakubiri nabalala mu liddako nga eno 97 Ssaabasajja yakwasizaako okusobola okusoma.
Ku ssomero lya Bbowa vocational e Bulemeezi abayizi batuula 36, ababiri nebayitira mu ddala erisooka ate abalala nebayitira mu lyakubiri .
Abakulu b’amasomero okubadde Nampijja Immaculate owa Lubiri High school e Mmengo, Nagguja Sarah Kikomeko owa Lubiri High school Buloba ne Kasozi Ahmed akulira amasomo ga Sceince okuva ku Bbowa vocational School Bulemeezi bebaziza obwakabaka okubawa obuwagizi nebasobola okubangula obulungi abayizi.
Bano baweze okukola obutaweera era bongere okusitula omutindo gw’abayizi era nebaloopera minisita okusoomoozebwa okw’amaanyi okuva ku bbula ly’ensimbi olw’abazadde okulwawo okusasula ebisale nebakaluubirizibwa obutambuza emirimu.