
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abakulira akakiiko k’ebyobulamu mu Bwakabaka basisinkanye Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu n’embeera z’abantu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma mu nteekateeka y’okwongera okutuusa empeereza ku bantu ba Kabaka.
Bano bakubye ttooci mu bigendererwa, ebituukiddwako mu mwaka 2021/ 2022 awamu nebisuubirwa okukolebwa mu mwaja gw’ebyensimbi 2022/ 2023 mu mwaka okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka.
Okusinziira ku alipoota Minisitule y’ebyobulamu gyeyanjulidde akakiiko yalaze nti abantu ba kabaka bajjumbidde nnyo enteekateeka y’okugaba omusaayi nga mu masaza Kyaddondo, Kyaggwe,Singo,Bulemeezi,ne Busiro Yuniti z’omusaayi eziwera emitwalo 6 nokusoba zezakungaanyizibwa.
Minisita Nankindu ayanjulidde akakiiko ebirala ebituukiddwako neyeebaza abantu ba Kabaka okubeera abawulize eri enteekateeka ez’enjawulo ezigendereddwamu okukyuusa embeera zaabwe omuli okwegemesa COVID-19 awamu n’okugaba omusaayi ssaako okulwanyisa Mukenenya wadde wakyaliwo okusomoozebwa.
Owek. Nankindu alaze ng’omulimu omunene ku Mukenenya bweguli mu abantu abawangaalira ku bizinga nga kalangala akawuka gyekali mukwegiriisa.
Akulira akakiiko kano, Owek Richard Kabanda agamba Obwakabaka bubadde busaale nnyo mu kulwanyisa ekirwadde kya Covid 19 nakawuka ka mukenyenya kyokka nga wakyaliwo omulimu munene ogw’okukola okwongera okutumbula ebyobulamu nembeera zabantu yensonga lwaki akakiiko kano wekali.
Ebiva mu bukiiko buno bikolebwamu alipoota eyawamu eyanjulwa eri Olukiiko lwa Buganda olukulu olwo nerusalawo engeri y’okwanganga ebibeera bivumbuddwa.









