Abakungu ba Kabaka basomesedwa ku bya mafuta agasimubwa mu Uganda.
Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bukyazizza aba Uganda National Oil Company n’aba Uganda Petroleum Authority nga bakulembeddwamu Minisita w’Ebyamasanyalaze n’Ebyobugagga ebyomuttaka Hon. Canon Ruth Nankabirwa.

Katikkiro Charles Peter Mayiga y’akulembeddemu Kabineeti ya Kabaka, Abataka Abakulu b’Obusolya, Abakulira ebitongole by’Obwakabaka, abakulembeze b’abavubuka n’abaweereza abalala mu Bwakabaka okwetaba mu musomo ku by’amafuta agasimibwa mu Uganda okutandikkira ku bitundu gye bagazuula okutuukira ddala ku masundiro gye gagulwa.
Omusomo guno gugendereddwamu okumanyisa abantu ba Kabaka ebikolebwa gye basima amafuta n’emiganyulo Uganda gy’enafunamu nga gatuuse okutundibwa, era Katikkiro Charles Peter Mayiga wano ategeezezza nti ebyobuggaga by’omuttaka bisaanidde okuyikuulwayo bikozesebwa mu nkulaakulana y’eggwanga ng’obutondebwensi tebukoseddwa.
“Ekyobuggaga ekyomuttaka bw’otakikozesa kibanga ekitaliiwo era ffe ng’Obwakabaka tuwagira okusima amafuta n’ebyobugagga ebirala ebiri mu ttaka era tusaba nga ssente zirabise zikole okukuuma obutondebwensi, zikozesebwe okuwagira emirimu egikolebwa abantu naye ebyobulimi tetubyerabiranga, gikosezebwe mu byobulamu, ebyenjigiriza, okuzimba enguudo n’ebirala” Katikkiro Mayiga bwalambise.
Amafuta agasimibwa kaakano gali mu kitundu kya Bunyoro era wano Kamalabyonna asabye abavunanyizibwa ku mafuta gano okusooka okuwa Bunyoro omutemwa gwayo ku mafuta aganaasimibwa, “tuwagira nti Bunyoro egabane omutemwa ku mafuta kubanga gye gasimibwa, tetwagala bantu b’e Bunyoro baboneebone ate nga eky’obugagga kiva mu kitundu kyabwe nga naffe abe Buganda bwe tugamba nti ffe abawaniridde eby’obuggaga bya Uganda naffe tusanidde okubaako omutemwa gwe tufuna”

Kamalabyonna akunze abayizi abakyasoma okweyunira okusoma amasomo agakwatagana n’ebyamafuta kuba emikisa gy’emirimu gye yongera, kyokka era alaze nti n’abantu abalala balina kuba bulindaala kubanga n’ensonda z’ensimbi mpitirivu kale abantu bonna tebasaanidde kwetulako.
Minisita w’amasanyalaze n’obuggaga obwensibo Dr. Ruth Nankabirwa Ssentamu asabye bonna abeetabye mu nsisinkano okutwala ebibasomeseddwa nga bikulu ate n’okwongera okubaatukirira nga tebeetiriridde singa baba n’ensonga ku mafuta agasimibwa mu ggwanga. Ono era anyonnyodde nti emikisa gy’okusima amafuta gikyali mingi mu ggwanga kale abataafuna mukisa ku mulundi guno tebaterebuka kuba emikisa gy’okusima amafuta amalala mu ggwanga gikyaliyo.
Frank Mugisha nga ye kamisona avunanyuzibwa ku kuyikuula amafuta (petroleum exploration) mu minisitule y’amasanyalaze n’ebyobugagga ebyomuttaka, alaze nti minisitule ekolaganye n’amakampuni ag’enjawulo mu kuzuula n’okuteekateeka okuyikuula amafuta kale buli mutendera guweebwa obudde obumala okuggusibwa okuzinziira mu bitundu gye bagazudde.
Ye Proscovia Nabanja, Ssenkulu wa Uganda National Oil Company alaze nti bbo essira balissa ku bamusigansimbi nga bakolagana n’amakampuni agenjawulo mu pulojekiti zonna okusobola okutuukiriza obuvunanyizibwa obwabaweebwa okulaba nga Uganda eganyulwa mu mafuta gano.
Alex Nyombi nga y’asomesezza ku lwa Uganda Petroleum Authority anyonnyodde nti ekitongole kyabwe kirungamya wakati wa kkampuni enkozi z’emirimu ku mafuta ne bannayuganda, nti mu mbeera eno balafuubanira obwekanya ku bintu ebikulu eri bamusigansimbi n’eggwanga ky’anyonnyodde nti oluusi ebiruubirirwa bya bamusigansimbi biba byawufu ku by’eggwanga kale nga wateekwa okubaawo okukkaanya n’okulondoola.









