
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Kkabineeti y’ Obusinga bwa Rwenzururu ng’ ekulembeddwamu omumyuka wa Katikkiro w’Obusinga Rt. Hon. Kule Benson Baritazale, bakyadde Embuga okwebuuza ku bukulembeze n’entambuza y’emirimu mu Bwakabaka bwa Buganda.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu ng’ era Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule yabaanirizza kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Owek. Mugumbule ategeezezza nti obukulembeze obw’Ennono okukolaganira awamu tekiriimu byabufuzi wadde, wabula okunyweza obumu n’obwasseruganda ekiyamba okugabana amagezi okukulaakulanya abantu ku njuyi zombi.
Sipiika Mugumbule abagenyi abanjulidde abakulembeze mu Bwakabaka naabayitiramu ku byafaayo bya Buganda ebitali bimu era bano balambuziddwa n’ebifo omukolerwa emirimu mu Bwakabaka okuli; woofiisi za Baminisita ba Kabaka, ekisenge ky’Olukiiko lwa Buganda, woofiisi za BBS Terefayina, CBS FM ne Buganda Land Board n’ebirala.

Omumyuka wa Katikkiro w’Obusinga, Rt. Hon. Benson Kule Baritazale ayanjudde ensonga enkulu ebaleese Embuga nga yakusaka magezi ku ngeri Obwakabaka gye butambuzaamu ensonga z’obukulembeze, emirimu wamu n’obuweereza obutuusibwa ku bantu.
Hon. Baritazale agamba nti mu kwongera okulongoosa n’okulinyisa omutindo gw’emirimu mu Businga, basazeewo okukyalira obukulembeze bw’Ennono obw’enjawulo mu Uganda okusakayo amagezi basobole okutumbula embeera z’abantu baabwe.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa alaze emitendera Obwakabaka mwe buyita okutuusa obuweereza eri abantu, engeri gye bukwanamu emikwano egivaamu emikago n’abavujjirizi okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
Ono alambuludde n’ensengeka y’obukulembeze mu Buganda ng’engeri obuweereza gye butambuzibwa okutuusibwa ku muntu asookerwako ku kyalo.
Owek. Nsibirwa annyonnyodde nti ensonga enkulu eziyamba Obwakabaka okutuukiriza emirimu egy’enjawulo bwe buyiiya, obwerufu, empuliziganya ennungi, okussa ekitiibwa mu buwangwa n’ennono, obumu wamu n’omukwano abantu ba Buganda gwe balina eri Kabaka n’obuvo bwabwe.
Baminisita ba Kabaka ab’enjawulo okubadde; Owek. Noah Kiyimba, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Owek. Anthony Wamala, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo nabo baliko obubaka bwebawadde abagenyi. Oluvannyuma abagenyi balambuziddwa ebitongole by’Obwakabaka ebyenjawulo okubadde Leediyo ya CBS ne BBS Terefayina awamu nebirala.