
Bya Betty Namawanda
Masaka – Buddu
Abakulembezze b’omu disitulikiti y’e Masaka balaze okutya olw’ebyobulamu ebisereba buli ddakiika era ne basaba gavumenti okusitukiramu ebeeko ky’ekolawo mu bwangu.
Bino Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Masaka, Joan Namutaawe n’omubaka wa Bukoto East, Ronald Evans Kanyike, baabyoogeredde mu kulambula amalwaliro okuli Kyannamukaaka Health Centre IV awamu n’amalwaliro amalala mu kitundu kino, gye baasanze nga tewali bikozesebwa ate awamu ng’abalwadde abakazi n’abasajja, bonna bajjanjabirwa mu waadi emu.
Ababaka bano era baliko kaweefube gwe baakoze okuduukirira amalwaliro n’ebikozesebwa okuyambako abasawo okunywerera ku mirimu oluvannyuma lw’abamu okulabula nti bagenda kusuulawo ebikola, olw’obutaba nabikozesebwa wakati g’ekirwadde kya Ssennyiga Corona kyeyongera buli kadde.
Omubaka Namutaawe yennyamiddde olw’embeera eri ku ddwaliro lya Kyannamukaaka Health Centre IV n’agamba nti kiswaza abakyala n’abasajja okusuzibwa mu waadi emu ate nga n’ebyeyambisibwa tebalina so nga n’abasawo tebalina we basula. Yagasseeko nti akasenge mwe balina okujjanjabira abantu kati mwe baasalawo okusula.
Ono yasinzidde wano n’asaba gavumenti eveeyo ebakwatizeeko nga disitulikiti y’e Masaka kubanga embeera eno yaakwongera okutta abantu n’abasawo.
Mu ngeri y’emu Omubaka Namutaawe yasabye eddwaliro lino lisuumusibwe lisobole okwang’anga embeera y’obungi bw’abantu ate era wateekebwewo ekifo we bakolerako ku bantu ba Covid-19.
Ate Ssentebe w’eggombolola y’e Kyannamukaaka, Cyrusi Kalema, agamba nti weewaawo ekitundu kino kibadde kikiikirirwa omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, kyokka embeera y’ebyobulamu naddala ku ddwaliro lino ekyali mbi nnyo.
Ye musawo Proscovia Nakyanzi eyasangiddwa ku ddwaliro lino era nga ye yakwasiddwa ebintu bino, yeebazizza nnyo omubaka olw’ettu lye yakubye eddwaliro.
Ye omubaka Kanyike Ronald Evans naye yatalaaze amalwaliro gonna agasangibwa mu magombolola okuli Buwunga ne Bukakata mu ssaza ly’e Bukoto East mu disitulikiti y’e Masaka, n’agawa ebikozesebbwa mu kwetangira obulwadde bwa Covid-19.
Ono yasabye gavumenti esse essira ku by’obulamu naddala ng’esookera ku malwaliro ag’omu byalo nti kubanga gano ge gasinga okukola omulimu ogwamaanyi mu kujjanjaba bannayuganda nga singa tegafiibwako abantu baakubonaabona nnyo.
Kanyike era yakoowodde gavumenti etuuse obuyambi ne ku bantu abawangaalira mu byalo kuba omuggalo eggwanga lye guliko tegwabataliza, obuyambi buleme kukoma mu ba mu bibuga bokka.









