
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abakulira ekitongole kya Obutondebwensi mu Masaza basabiddwa okukubiriza abantu okusitula amaloboozi nga balaba obutondebwensi butyoboolwa kitaase eggwanga ely’ omu maaso.
Okusaba kuno kukoleddwa Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n’ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, bw’abadde asisinkanye abakulira e kitongole kya Bulungibwansi n’obutondebwensi mu Masaka.
Owek. Mayanja annyonnyodde ku butya bwe balina okuddukanyamu emirimu gy’ebitongole bye bakulembera.
Oweek Nkalubo agamba nti abakulembeze abatuufu basaanye okutambulira awamu n’abantu ba Kabaka, ba bakubirize okusitula amaloboozi nga balaba obutondebwensi butyoboolwa, okugeza okumenya e nnyumba z’abantu, okutema emmere yabwe, okutema emiti, okuziba entobazi, nti omulanga gw’Abantu gusobola okukkakanyako ku balabe b’obutondebwensi.
Mu buufu obwo agamba bbo nga abakulembeze balina okunnyikiza obukulembeze okuva ku Ssaza okutuukira ddala ku kyalo basobole okufuna alipoota ku buli kitundu n’ensonga ezibaluma.
Era abasabye okutegeera aba NEMA abatuufu abali mu bitundu byabwe, ba beyanjulire basobole okutambulira awamu mu kaweefube wokukuuma obutondebwensi.
Omukwanaganya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka, Mukyala Teddy Nabakooza Galiwango, abatangaazizza ku nteekateeka za Minisitule ku bya obutondebwensi, okumanyagana wamu n’okutegeera engeri gye balina okutambuzaamu emirimu mu Masaza.
Ensisinkano egendereddwamu okulaga Obwakabaka bye butegese okukola okutaasa Obutonde.
Bano babanguddwa ku nteekateeka Nnamutaayiika bamanye okusoma enteekateeka za Minisitule mu myaka etaano mu maaso ezeekuusa ku buvunaanyizibwa bwabwe baleme kukola bintu bya kweyiya wabula bategeere enteekateeka z’obwakabaka zibalambike ku bye balina okukola.