• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abakulembeze baagala gavumenti eyanguwe okunoonyereza ku baabadde emabega w’obutujju

Gambuuze by Gambuuze
November 17, 2021
in Amawulire
0 0
0
Abakulembeze baagala gavumenti eyanguwe okunoonyereza ku baabadde emabega w’obutujju
0
SHARES
77
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo basabye poliisi n’abeebyokwerinda okwanguyaako okunoonyereza ku abaabadde emabega w’obutujju obwalese ng’abantu abawera basatu bafu ate abasoba mu 30 nga banyiga biwundu.

Omukwanaganya w’ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT), Alice Alaso Asianut asabye okunoonyereza kuno kubeere kw’amazima era mu bwenkanya okusobola okuzuula ekituufu.

“Tusaba poliisi awamu n’ebitongole by’ebyokwerinda okunoonyereza mu bwangu ku butujju bwa bbomu zombi era abo abaabadde emabega w’ebikolwa bino basobole okuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.” Alaso bw’agambye ng’ayita mu kiwandiiko.

Ssenkaggale wa Democratic Party (DP) asabye gavumenti okukwatagana n’amawanga amalala okusobola okwang’anga ekizibu kino kuba kiri mu mawanga gonna.

“Tusaba okukolaganira awamu ng’amawanga agali mu kitundu kino okusobola okulwanyisa abatujju. Kino kijja kwetaagisa okugabana amawulire n’amawanga amalala okusobola okusaanyaawo obubondo bw’abantu.” Mao bw’ategeezezza.

Kyo ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), kisabye wabeewo obwenkanya n’amazima mu kunoonyereza ku nsonga eno ne basaba wabeewo ekitongole ekitalina kyekubiira okunoonyereza kuba ebitongole bya gavumenti bizuuliddwamu kyekubiira, ekiremesa obwenkanya okubeerawo.

Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Mathias Mpuuga,  asabye gavumenti okukolagana obulungi n’abantu basobole okugiyamba ku mawulire ku nsonga eno.

“Tusaba abo abalondeddwa  okuwa amawulire ku lw’ebitongole by’ebyokwerinda y’aba awa amawulire agasengejjeddwa obulungi, kiyambe okuleetawo obwesigwa kuba ebitongole bino bimanyi okukubagana empawa.” Mpuuga bw’annyonnyodde.

Owek. Mpuuga asabye abantu okwekengera era buli omu afube okubeererawo munne.

Ye Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, asabye abantu okubeera obulindaala ku mbeera eriwo kuba tewali amanyi mulabe mutuufu y’ani.

Ate omubaka Sseggona agambye nti kye kiseera okwekkaanya abantu abakola obutujju temuli alina myaka gya Pulezidenti Museveni naye bonna bato era balina ebizibu bingi nga biva ku ky’abantu bakulu kusaanyaawo biseera byabwe eby’omu maaso nga balemera mu mirimu awamu ne gavumenti okubayigganya.

Sseggona ategeezezza nti poliisi erina okuggya ebyobufuzi mu kunoonyereza ku butujju era ekozese buli muntu okusobola okuzuula ekituufu, bw’atyo asabye abantu okugiyambako kubanga omulimu gwe baliko munene.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.