
Bya Miiro Shafik
Makerere – Kyaddondo
Leero obululu bukwatiddwa okusengeka ttiimu z’Amasaza ez’enjawulo mu bibinja nga bwezivuganya omwaka guno. Bino bibadde ku Makerere School of Public Health ewabadde olukuŋŋaana lw’Abakulembeze ba ttiimu z’Amasaza.
Olukuŋŋaana luno lwaguddwawo Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo era ono yasiimye nnyo okulaba nti enteekateeka z’emizannyo gy’Amasaza zitandikiddwa mu budde n’agamba nti kino kigenda kusobozesa buli omu okweteekateeka obulungi.
“Omupiira gw’Amasaza mukulu nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda kubanga ensonga ssemasonga ettaano zonna zivaayo bulungi mu mpaka zino” Prof. Kaawaase

Owek. Kaawaase agamba nti omupiira gw’Amasaza gujjirayo ddala ekifaananyi kya Buganda mu okunyweza obumu mu bantu, okukuuma ensalo za Buganda, okusitula ebyenfuna mu bantu, okutumbula ebitone n’ebirala. Ono bwatyo akubirizza buli eyeetaba mu mizannyo gy’Amasaza okufaayo ku kifaananyi ky’Obwakabaka era empisa zikulembezebwe mu nsonga zonna.
Ye Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga yebazizza bonna abavuddeyo okuweereza Amasaza gaabwe okuyita mu mizannyo gy’Amasaza era ategeezeza nti sizoni eno egenda kubeera ya njawulo ddala kw’ezo eziyise.
“Buli muntu tumwetaaga mu mupiira era buli omu mukulu mu muzannyo guno, twetaaga Bannamawulire, Abasawo, Abawagizi, Abakulembeze, Ba Referees, Abakuumi na buli muntu” Minisita Serwanga.
Owek. Serwanga agamba nti mu Buganda buli muntu ayanirizibwa era kino mu mpaka z’Amasaza kirabikira ddala bulungi, bwatyo asabye buli muntu okukuuma ekitiibwa kya Buganda n’ekifaananyi ky’empaka z’Amasaza.

“Amasaza gazanyiddwa emyaka 20 egiyise, buli omu weebuze wali luddawa mu kiseera ekyo, abaatandika empaka zino bwe baba basima omusingi ne tusobola okuzisanga, naffe tulina okukuuma ekifaananyi kyazo” Minisita Serwanga.
Mu lukuŋŋaana luno abakulembeze ba ttiimu z’Amasaza baweereddwa emisomo egy’enjawulo okuva mu bakugu ku nsonga omuli ebyobulamu, obukuumi, ebyokwerinda, ebyempuliziganya, obuvujjirizi n’emikago, ennamula z’omupiira n’ebyekikugu mu muzannyo gw’omupiira.
Emisomo gino gikubiriziddwa Omuk. Jamir Ssewanyana ate abasomesa babadde 9; Dr. Kalanzi Joseph, Omw. Henry Kitambula ne Hajj Lukooya Abdu Ssekabira, Referee Ali Tomusange, Omw. Festus Kirumira, munnamateeka Derrick Kavuma, Ahmed Hussein, Ssentongo Robert ne David Isabirye.
