Bya Ssemakula John
Masaka
Abakozi ba disitulikiti ye Masaka bana bazuuliddwamu ekirwadde ki COVID-19. Kino kyabikuddwa akulira eddwaliro lya Masaka Regional Referral Hospital Nathan Onyachi nategeeza nti abana bano batandise dda okujjanjabibwa.

“Abakozi ba disitulikiti ye Masaka bana basangiddwa ne ssennyiga corona era twatandise dda okunoonya abantu abaliko nabo n’okukebera abakozi abalala ku disitulikiti eno era n’okubasaba okwetwala mu Kalantiini,” Onyachi bweyategeezezza.
Onyachi yagambye nti ekisinze okwongera okusaasaana kw’ ekirwadde kino be bantu obutafaayo kugondera biragiro ebyabaweebwa okutangira ekirwadde kino ekya Ssennyiga Corona.
Yasabye bannayuganda okufaayo okwekuuma ekirwadde kino ku mirimu ne mu maka gaabwe.
Ate yye omubaka wa Pulezidenti e Masaka Herman Ssentongo, era nga yakulira akakiiko akalwanyisa ekirwadde kino yalambuludde nga bwebagenda okulinda ebinava mu kukebera abakozi abalala naabaliko n’abalwadde okusalawo oba ekitebe kino bakiggalwa.
“Mukiseera kino abakugu baffe bafuna Sampolo ku bakozi bonna aba disitulikiti era kino kye kigenda okutuwa kyetuzzaako,” Ssentongo bweyagambye nalabula abatuuze okukomya okujeemera ebiragiro bino bwebaba bakyayagala obulamu.
Ssentongo yagambye nti mu kitundu kye Masaka bakaziikamu abantu bana abafudde kirwadde kino wadde bano bagyibwa Kampala.
Mu kiseera kino eggwanga lyakafiirwa abantu 46 okuva mu mwezi gwa March ekirwadde kino lwekyabalukawo.
Masaka yafuna abalwadde ba ssennyiga Corona 84 nga ku bano abalwadde 74 bawona nebasiibulwa era nga kati eddwaliro lirina abalwadde 10 bokka.
Bino webigidde nga ku Lwokusatu Minisitule y’ebyobulamu yakakasizza nga abakafuna ekirwadde kino bwebaweze 4,101 ku bano 1,876 basiibulwa.








