• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abakazi baleseewo obufumbo ne bagenda ku byeyo – Alipoota

Gambuuze by Gambuuze
February 15, 2022
in Amawulire
0 0
0
Abakazi baleseewo obufumbo ne bagenda ku byeyo – Alipoota
0
SHARES
65
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Minisitule y’ekikula ky’abantu n’enkulaakulana yaabwe, etegeezezza ng’omuwendo gw’abasajja abeemulugunya ku bakyala baabwe ababadduseeko ne bagenda okukuba ekyeyo mu mawanga g’Abawarabu bwe gweyongedde.

Okusinziira ku Ministule eno, okwemulugunya kuno okusinga  kuva mu basajja abawangaalira mu byalo era nga bagamba nti tebalina kye bamanyi abakyala baabwe gye bali, ekintu ekireeseewo okwekyawa mu baami bano nga weetaaga okubaawo ekikolebwa.

Minisitule egamba nti abakyala bava mu maka gaabwe ng’abaami tebategedde ne bagenda okwenogera ku nsimbi mu kyondo kya Buwarabu.

“Mu kitongole kyaffe ekirwanyisa okukusa abantu mu minisitule y’ekikula ky’abantu ekya ‘ National Centre for Coordination and Prevention of Trafficking in Persons,’ twongedde okufuna okwemulugunya okuva mu basajja ku bakyala baabwe okubabulako ne bagenda ku kyeyo.” Amyuka akulira ekitongole kino Agnes Igoye bw’ategeezezza.

Ebiri mu Minisitule eno biraga nti omuwendo gw’abavubuka abawala  abagenda ku kyeyo gweyongedde nnyo okusinga ku gw’abalenzi.

Wabula Igoye agamba nti wadde abasajja beemulugunya kyokka bwe bagenze mu maaso n’okukebera ekituufu oba bano babadde bakyala baabwe, kizuuse nti tebaabawasa mu mateeka nga bwe baba bagamba.

Ono asabye abakyala okwesonyiwa okudduka ku basajja n’ategeeza nti singa wabaawo obutakkaanya ekisinga kutuula na kwogerezeganya okusinga okugumaza embiro.

Minisitule eraze nti ekimu ku bintu ebisinze okuvaako abakyala okuddukira ku kyeyo bwe bufumbo n’omukwano gwe babaddemu okusasika.

Ku nsonga z’omuwala Judith Nakintu eyaggyibwamu ensigo bwe yali akola mu kiyumba mu  Saudi Arabia, Igoye agamba nti Ssaabawaabi wa gavumenti yamaze dda okuggula emisango ku bannannyini kkampuni ya Nile Treasure Gates Company abaatwala omuwala ono okukola era mu bwangu baakusimbibwa mu maaso g’omulamuzi.

Abavunaanibwa kuliko; Kato Abubaker, Muhammad Mariam, Ali Hassan ne Salma Muhammad.

Kigambibwa nti Nakintu yatwalibwa kkampuni ya Nile Treasure mu 2019 okukola e Saudi Arabia ng’omukozi wa waka naye mu 2021 bakama be baamutwala mu ddwaliro okumugema COVID-19 naye n’amaliriza ng’ensigo bazitutte.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist