Bya Musasi waffe
Abasirikale b’ejje lya UPDF basatu battiddwa abalumbaganyi abatannategeerekeka mu disitulikiti y’e Zombo mu mambuka ga Uganda.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa UPDF Lt Col Deo Akiiki, abantu abasukka mu 100 baalumbye enkambi ya UPDF esangibwa mu Kabuga k’e Zombo nga balina amajambiya, obusaale, n’emiggo era nabatta abasirikale basatu n’okulumya abalala.
Aba UPDF nabo baasobodde okuttako abawera ng’era omuyiggo gukyaliko okuzuula abalala eb’enyigidde mu bulumbaganyi buno.