Bya Dr Martin M. Lwanga
Kampala
Emabegako waliwo Abaganda abaagunjawo enjogera ya, “Basiima ogenze!” Ekitegeeza nti ebirungi by’omuntu birabibwa takyaliwo!
Wadde tewali muganda abuusabuusa nkulaakulana Katikkiro Charles Peter Mayiga gy’atuusizza ku Buganda, naye ate abamu bamufudde omulabe nnamba emu olw’amawulire ga Kabaka okubeera nti tali bulungi.
Naye kino kikyabeewuunyisa! Ono si gwe basoose okuwalampa n’abo abaamusooka mu woofiisi eno wadde baakola bingi naye era nabo baamaliriza tebasiimiddwa. Abaaliwo ndowooza mujjukira ekyatuuka ku Katikkiro Eng. J.B Walusimbi, Owek. Mayiga gwe yaddira mu bigere. Ono naye yajolongebwa.
Ono mu mitawaana gye Kayunga yakola buli kimu okulaba nti Ssaabasajja Kabaka alambula essaza lye ery’e Bugerere mu 2009. Ensonga eno yali ya bulamu na kufa tewali kirala. Era mwalaba ebyavaamu kwali kwekalakaasa okwebyafaayo.
Nga tannafuuka Katikkiro, Owek Walusimbi yali muwanika era ajjukirwa nnyo olw’okukola obutaweera okulaba nti eggwanika libeeramu ensimbi.
Ono alina omukono mu nkola y’okugula satifikeeti eyagenderera okulaba nti Obwakabaka busobola okweyimirizaawo kuba bwali tebusolooza musolo.
Naye bwe yali anaatera okuva ku Bwakatikkiro, Katikkiro Walusimbi yeemulugunya mu Lukiiko nga bwe waaliwo abantu ab’enkwe era abalyolyomi era bano be bamu ku baamulemya emirimu!
Ekintu kye kimu kye kyang’ambibwa n’eyali Katikkiro omugenzi Joash Mayanja Nkangi. Ono yagamba nti kizibu okuweereza mu woofiisi eno omuntu n’asobola okutebuka enkwe zonna.
Eky’okulabirako ye musajja Nkangi gwe yaddira mu bigere, Katikkiro Micheal Kintu era ono yavaako mu 1964.
Omuvubuka omuto munnabyabufuzi, Apollo Milton Obote, baamuleeta ne bamwanjulira Ssekabaka Edward Muteesa era abaamwanjula gyali mikwano gye gye yasoma nabo e Budo era bano baamusanga mu Lubiri lwe Baamunaanika.
Baasaba Ssekabaka Muteesa abakkirize bakole omukago ne Kabaka Yekka era kino Katikkiro Kintu yakisimbira ekkuuli nga yeekengedde Obote era n’agezaako okusaba Ssekabaka Muteesa obutamwesige kuba baali tebamumanyi.
Era bwe baali mu lukung’aana lwe Lacanster e Bungereza, Katikkiro Kintu yafuba okulaba nti Buganda efuna obwetwaze wakati nga bakola Ssemateeka wa 1962.Ate waayita mmeka ng’okwekengera Katikkiro Kintu kwe yalina ku Obote tekutandise okweyerula?
Oluvannyuma lwa Uganda okufuna obwetwaze, Obote eyajja yeesesa yasimba amannyo ku nsonga ng’ayagala akalulu keekikungo ke kaba kasalawo ku Masaza ga Buganda agaabula wadde baalina endagaano ey’okukolera awamu.
Akalulu bwe kaakubwa, Buganda yafiirwa amasaza gano okuli Buyaga ne Bugangayizi naye olowooza ani abaganda gwe baanenya! Mu bwangu waabalukawo ekibinja ekyalumba olukiiko ne kisaba Katikkiro Kintu okubaviira mu bwangu.
Katikkiro Kintu yali azze mu bigere bya Katikkiro omulala naye ataasimwa wadde. Mu 1953, Katikkiro Paulo Kavuma naye abaganda baamutabukira nga bawakanya ekya Bungereza okuwang’angusa Ssekabaka Muteesa II bwe yali agaanye okukkiriza okugattibwa ku mukago gwa ‘East Africa’ nga atya Obwakabaka okubuliramu.
Mu bwangu era ogubinja gwatandika okutambuza eng’ambo nti Katikkiro Kavuma yali awagira eky’okugatta Buganda ku East Africa. Bano baali basuubira nti ajja kulekulira naye yalemerako era oluvannyuma amaanyi ge gaasasulwa Kabaka Muteesa bwe yadda mu nsi ye mu 1955 era n’ayongera okulamula.
Katikkiro Paulo Kavuma yali azze mu bigere bya mutabani wa Katikkiro, Apollo Kaggwa, Katikkiro Kawalya Kaggwa era ono naye abaganda baamusindiikiriza.
Kawalya Kaggwa yafuuka Katikkiro mu 1945, ono baamulanga kusaba masannyalaze n’amazzi amayonjo ekyavaako okuzimba ebibiro ly’amasannyalaze erya Owen Falls Dam. Wadde kikwasa ensonyi mu kadde kano naye abamu ku baganda baawulirwa nga bawakanya Kawalya Kaggwa era y’emu ku nsonga ezaamuviirako okuva mu woofiisi mu 1950.
Naye bwe wabaawo Katikkiro eyasinga okusindiikirizibwa mu byafaayo bya Buganda, oyo ye Martin Luther Nsibirwa. Ono yayita mu mikono gya Katikkiro Kaggwa era ye yamubangula mu ngeri Obuganda gye butambulamu.
Nsibirwa okusooka okumugobaganya mu woofiisi kyava ku kukkiriza Nnamasole kuddamu kufumbirwa era wano kumpi Obuganda bwonna bwakolera omuliro era woofiisi yagivaamu.
Katikkiro Samuel Wamala ono teyalwawo, mu kwekalakaasa kwa 1945 abamu ku baganda baamulumiriza okububeeramu n’omukono. Katikkiro Wamala wamu n’abamu ku baamasaza baakwatibwa ne basibirwa mu bizinga bye Seychelles era gye yafiira nga we yafiira ng’abamu babityebese nti yali atabuse omutwe. Wadde Wamala yafa nga muzira kuba yali awakanya ejjoogo ly’Abazungu naye tayogerwako nnyo mu byafaayo bya Buganda.
Oluvannyuma Katikkiro Nsibirwa yaddamu n’alondebwa okudda mu bigere bya Wamala naye abantu baddamu ne bamutabukira bwe yakwata yiika z’ettaka 200 n’aziwaayo eri Abangereza bagaziye ettendekero ly’e Makerere. Waayita olunaku lumu ng’amaze okuteeka omukono ku ndagaano ewaayo ettaka, Nsibiwa n’akubibwa amasasi agaamutta era eyamutta yategeerekekako limu lya Ssenkaatuuka! Leero okufaananako ne bakatikkiro abaamukulembera, Katikkiro Mayiga yeesanze mu mbeera y’emu.
Kino kindeetera okufundikira emboozi eno nga mbuuza abaganda nti singa Katikkiro Mayiga avaawo nga abamu bwe mukyagala, muganda ki Ssaabasajja Kabaka gw’anaabawa ng’atuukiridde. Naye Ssaabasajja Kabaka Mutebi talinga abangi ku ffe abatasiima, Kabaka awuliriza era asalawo obulungi era amanyi okusiima omuntu mu kaseera akatuufu!