
Bya Ssemakula John
Texas – Amerika
Abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru w’eggwanga basabiddwa bulijjo okubeera abawulize eri Nnamulondo era balwane okulaba nti abaana babwe babakuliza mu mpisa za Buganda okwewala amayano agayinza okutuukawo.
Okusaba kuno kukoleddwa minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu era avunanyizibwa ku bantu ba Kabaka abawangalira ebweru w’eggwanga, Owek. Joseph Kawuki bwabadde ayogerako n’abantu ba Beene abawangalira e Texas mu America nga bakuza olunaku lwa Buganda.
Bw’abadde ayogerako eri abantu abeetabye ku mukolo guno, Minisita Joseph Kawuki asabye abantu ba Kabaka bulijjo okunyweza obumu era banyweze emiramwa Buganda kwerina okutambulira.
Abasabye okusabira abaana babwe baleme okuyingirira emize gikyaase ennyo ensangi zino naddala mu bitundu gyebawangaalira kuba amateeka gaayo gabakkiriza naye bamanye nti balina okutambula nga abantu ba Buganda.
Owek. Kawuki bano abalabudde ku bantu abatambuza engambo ezitaliiko mitwe namagulu ku mutimbagano naddala ezo ezityoboola Nnamulondo awamu n’abaweereza ba Buganda.
Ono asabye abantu bano okuyambako ebitundu eby’enjawulo okufuna amazzi amayonjo nga beekung’aanyamu ssente nebasimira abantu enzizi nga bannabwe ab’e Kansasi ne Colorado bwebakola.
Omugenyi omukulu ku mukolo guno, Omukenkefu era munnamateeka Mubiru Musoke okuva e Atalanta mu Georgia, ajjukizza abeeno engeri Buganda gyeyazimbibwamu awamu n’amasiga amakulu agayimiriddeko Obwakabaka era nebasabibwa okugakuuma.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu ab’enjawulo okubadde Andrew Mulindwa abadde omuwanika, Ssaalongo Roy Kayizzi ng’ono muwandiisi ne Betty Sserunjogi abadde omukunzi w’abantu, Kiwewesi Badru Yiga, Peter Sserunjogi, Muwanga Batuuka, Paasita Ismael Kigozi,Omumbejja Jackie Nakalema, Jane Kibuule, Ronah Nakalema Kabali, Mulimira Baker, Harriet Walulya, John Musoke ne Mathias Kyobe.









