Bya Samuel Stuart Jjingo
Luzira – Kyaddondo
Obwakabaka bulabudde emigigi emito okwewala okutwala abantu abafere nga eky’okulabirako mu bulamu bwabwe.
Bino Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, abyogeredde ku ssomero lya Luzira Secondary school mu kusaba okutegekeddwa okwebaza Katonda olw’ebyavudde mu bigezo by’akamalirizo ebya Siniya ey’omukaaga n’eyokuna ku mukolo oguyindidde mu kisaawe ky’essomero ekipya ekigguddwawo mu butongole olwa leero.
Oweek. Waggwa Nsibirwa asinzidde wano n’alabula abayizi okwegendereza abantu abeesowoddeyo mu bitundu by’abwe nga boogera ku bintu bye batalinaamu bukungu ba beewale kubanga bayinza okubawabya ne batatuukiriza birooto byabwe bw’atyo n’abasaba okuwuliriza amaloboozi g’abantu ab’ensonga ababakulembera ku ssomero, ne bazadde baabwe olwo bawangule ensi.

Oweekitiibwa Nsibirwa era abakubirizza okuba ab’empisa nga bakola ebintu bye bateekeddwa okukola, okubeera n’endowooza ebayamba okusalawo kye beetaaga mu bulamu olwo lwebajja okusanyusa bazadde baabwe n’abasomesa nga batuuse ku buwanguzi mu bye basoma ku ssomero.
Mu ngeri y’emu Oweek Robert Waggwa Nsibirwa asanyukidde ebibala ebivudde mu bayizi abasomeddeko ku ssomero lino abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Luzira Old Students Association nga kati nabo beenyigira butereevu mu nteekateeka z’okukulaakulanya essomero lyabwe.
Omulabirizi w’e Namirembe The Rt. Rev. Moses Banja y’akulembeddemu okusaba kuno era abuuliridde abayizi abamalirizza okusoma nti bateekeddwa obuteerabira Katonda wabwe mu kusoma okuddako mu maaso nga bajjukira ebirungi by’abatuusizaako.
Omukulu w’essomero lino Peter Hormisdas Ssenyimba yeebazizza abazadde ababataddemu obwesige okusomesa abaana baabwe.Ebitundu 64 eby’abayizi abaatuula ebigezo eby’akamalirizo ku ssomero lino omwaka oguwedde basobodde okufuna obubonero obubatwala ku matendekero ag’awaggulu ate abayizi 4 baafuna obubonero 20 mu Siniya ey’omukaaga.

Wabaddewo okusonda ensimbi z’okuddaabiriza ekizimbe ky’okusomeramu abayizi ekipya ekigenda okubeerako emyaliiro ena nga ensimbi obukadde 116 bwe bukungaanyiziddwa.
Omukolo gwetabiddwako; Omumyuka wa Kaggo Asooka Oweek. Ronald Bakulumpagi, Katikkiro w’Ekika ky’Endiisa Dr. Livingstone Ddungu, bannabyabufuzi n’abantu abalala.









