
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abakulembeze abaalondedwa okuddukanya ekibuga kya Ssaabasajja Kabaka eky’e Masaka okukikulaakulanyiza ku pulaani ng’ebibuga by’ensi endala okusobola okwewala ensobi ezaakolebwa mu kuteekateeka ekibuga Kampala.
Bino Katikkiro abyogeredde mu bubaka bw’atise minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu era avunaanyizibwa ku ntambula za Ssaabasajja Kabaka, Owek.Joseph Kawuki bw’abadde atikkula Oluwalo oluleeteddwa bannabuddu wano mu bimuli bya Bulange.
“Bazimbe ekibuga Masaka ekiggyayo obulungi ekitiibwa kya Buganda nga bagoberera enteekateeka ennung’amu ate nga beewala obuvuyo obwa buli ngeri. Mumanyi bulungi ettoffaali Kabaka lye yateeka ku kibuga ekyo.” Minisita Kawuki bw’ategeezezza bannabuddu ku lwa Katikkiro Mayiga.
Minisita Kawuki annyonnyodde nti kino kye kiseera bannabuddu okwekkiririzaamu kwe balina, kulabikire mu nfaanana y’ekibuga kino era buli kikolebwa kibeere kya mutindo.
Mu bubaka buno Katikkiro Mayiga asabye ekibuga kino kisooke kuganyula bannabuddu olwo kidde eri abantu ba Buganda n’abalala.
Abakubirizza okukuuma enkolagana ennungi n’abantu ba Kabaka era bakimanye nti buli kinaakolebwa mu kibuga kino Omuteregga ajja kubeera akigoberera. Kamalabyonna alagidde ensonga y’okukuuma obutondebwensi eteekebweko essira basobole okutaasa ensi kuba ebibuga ebirala nga Kampala byonna birinnyiridde nnyo obutonde, ekyongedde okuleetawo amataba.
Katikkiro era asabye wabeerewo obwenkanya eri abantu ba Kabaka abakolera mu kibuga kino omuli abasuubuzi naddala nga tebababinika misolo mingi, basobole okusigala nga bakulaakulanya eggwanga lyabwe.
Eggombolola ssatu ze zikiise embuga olwaleero okuli; mutuba ebiri Bukulula, mutuba mukaaga Katwe ne mutuba 20 Bukakata nga zino ze zimu ku ggombolola ezikola essaza Buddu.
Abaami ba Kabaka abakulembera eggombolola zino banjudde ebituukiddwako mu bulembeze bwabwe n’ebibasoomooza.
Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi yasitula ku ddoboozi n’asaba gavumenti ennyonnyole lwaki Masaka yali teweereddwa mutendera gwa City era abakulu oluvannyuma baagondera eddoboozi lye, Masaka be kifuulibwa City.
Omwami wa Kabaka owa Mutuba abiri Bukakata, Rose Namuddu, asiimye Katikkiro Mayiga olw’enteekateeka y’Emmwanyi Terimba, esobodde okutumbula enkulaakulana y’abantu mu Bukakata.
Ono alookomye nga bwe balina ekizibu n’ekitongole ky’ebibira ekya National Forest Authority, kye bagamba nti kibayingirira era n’asaba aba Buganda Land Board okuyitayo beerule empenda kuba bagobebwa ku ttaka erimanyiddwa obulungi nti lya Buganda.









