
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Ababaka ku ludda oluvuganya beekalakaasizza ne bafuluma Palamenti nga bagamba nti tebajja kuteesa nga bannansi bagenda mu maaso n’okutulugunyizibwa ate abalala nga bavundira mu makomera.
Bano ababadde bakulembeddwamu akulira oludda oluvuvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga kino bakikoze wakati olutuula lwa Palamenti olubadde olwaleero ku Lwokuna lugenda mu maaso ekireeseewo emirimu okusannyalala.
Bano batudde ku maddaala agayingira Palamenti nga bwe baleekanira waggulu nti.” Twagala ddembe, muyimbule abantu baffe.”
Wakati ng’okwekalakaasa kuno kugenda mu maaso, Owek. Mpuuga ategeezezza nti babadde balina okufuluma kuba embeera y’okutulugunya n’okusiba bannansi esusse obw’omulamuzi.
“ Olwaleero nga 3rd of February 2021, kigenze mu byafaayo bya Palamenti nti ababaka ba Palamenti ku ludda oluvuganya, omuli abatalina bibiina n’abamu mu kibiina kya NRM, tufulumye nga tuwakanya obutali bwenkanya obuli mu ggwanga lino omuli okutta, okubuzaawo awamu n’okutuusa ebisago ku bannansi.” Owek. Mpuuga bw’alambuludde.
Mpuuga agamba nti wakati nga bino byonna bikoleddwa, abakulu mu gavumenti tebalina kye basobola kunnyonnyola embeera gye batakyasobola kugumiikiriza.
Okwekalakaasa kuno we kujjidde nga waliwo akatambi k’omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija akatambuzibwa nga ali bwereere wabula nga yenna ajjudde ebiwundu n’enkovu ebigambibwa nti yabifuna ali mu kaduukulu oluvannyuma lw’okukwatibwa.
Bwe yali asindikibwa ku alimanda ku misango gy’okuvvoola Pulezidenti ne mutabani we, Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako eya Buganda Road yalagira abaamakomera okwekebejja Kakwenza okuzuula embeera y’obulamu bwe.
Alipoota ya bano eyafulumizibwa nga January 20, 2022 ng’eriko omukono gwa Dr.James Kisambu, yalaga nti Kakwenza yali ajjudde ebiwundu awamu n’enkovu omubiri gwonna nga bino yabifuna tannasindikibwa ku alimanda.
Mu ngeri yeemu era waliwo omuwagizi w’ekibiina kya NUP eyakwatibwa e Kasese naye eyavuddeyo n’alumiriza ab’ebitongole by’okwerinda okumutulugunya nga bamubuuza bye yali ateesa ne Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Davis Lewis Rubongoya.









