Bya Betty Namawanda
Bukomansimbi – Buddu
Ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda batabukidde Minisita w’ebyokwerinda, Jim Muhwezi ku ttemu ly’ebijambiya eriri mu bitundu by’e Buddu.
Bano nga bakulembeddwamu Ssentebe w’akakiiko era omubaka omukyala owa Bushenyi, Rosemary Nyakikongoro bategeezezza nti gavumenti bw’eremeddwa okuzuula ensibuko y’ettemu lino, ekitadde bannamasaka ku bunkenke.
Nga basinziira mu lukung’aana lwe baatuuzizza ku kitebe kya disitulikiti y’e Lwengo mu Buddu nga lwetabiddwamu Minisita Muhwezi, abatuuze awamu n’ababaka ku kakiiko ssaako ababaka abava mu kitundu kino, baasabye Minisita Muhwezi annyonnyole obuzibu we buli.
Kino kyaggye Minisita Jim Muhwezi mu mbeera n’anyiiga n’akwata akazindaalo ng’agezaako okulemesa abaatuuze okwogera ku mbeera eri mu kitundu ng’agamba nti kigenda kutaataaganya okunoonyereza kw’abeebyokwerinda.
Muhwezi yalabudde ababaka nti tebalina lukusa kunoonyereza ku mbeera eri mu bbendobendo ly’e Masaka, ekintu ekyatabudde ababaka nabo ne bamwambalira nga bagamba nti bakola mulimu ogwabatutte.
Ssentebe w’akakiiko kano, Rosemary Nyakikongoro yategeezezza Muhwezi nti bo bagenze kuyamba batuuze nga sibaakutaataaganya kunoonyereza kwa babyakwerinda era n’agumya abatuuze nti ensonga zaabwe zigenda kukolebwako.
Mu ngeri yeemu ababaka mu Kitundu kino nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa Bukomansimbi, Veronica Nanyondo, Dr. Christine Ndiwalana owa Bukomansimbi North ne Francis Katabaazi owa Kalungu East, baagamba nti guno si gwe mulundi ogusoose ab’ebijambiya okulumba ekitundu kino, kyokka ng’ekyewuunyisa bino byonna bibeerawo ng’okulonda kuwedde ate nga gavumenti eringa etafaayo.
Bano era baasabye gavumenti ettemu lino eriggyemu empalana z’ebyobufuzi, empalana z’ettaka, n’ebirala. Era baasabye Gavumenti eggyewo kafyu nga bagamba nti awa abatemu b’ebijambiya omwagaanya okwetaaya ng’abantu beggalidde mu mayumba gaabwe.
Ye atwala poliisi y’e Misanvu mu disitulikiti y’e Bukomansimb, Abongo Maurice Jefferson yagambye nti ab’ebibaluwa basinze kwegiriisiza mu kitundu kino, n’asaba akakiiko kabayambe kabawe eby’okukozesa naddala mu mbeera eno okuli entambula, ebyokwambala n’ebirala.
Bo abatuuze baalaze okusoomooza kw’ebibaluwa ebibasuulirwa ne bibateeka ku bunkenke ne basaba wabeewo ekikolebwa.