Bya Ssemakula John
Kampala
Ababaka ba Palamenti baagala gavumenti ekomyewo Sipiidi gavana mu mmotoka ez’olukale kiyambeko okukendeeza ku ndiima ezireese nga bannayuganda bafiiriddemu.
Kino kiddiridde abantu abawera 26 okufiira mu kabenje e Mbale awamu ne Kabarole mu wiiki eno nga kigambibwa nti obubenje bwombi bwavudde ku kuvugisa ndiima.
Mu bubenje buno abantu 20 bafiiridde mu bbaasi ya Link ku luguudo lwa Fort Portal – Kyenjojomu disitulikiti ye Kabarole ate 6 bafiiridde ku Mbale – Tirinyi nga takisi ye yavuddeko obuzibu.
Wadde Minisitule y’ebyentambula yateekawo etteeka okuteeka obuuma bwa Sipiidi Gavana mu mmotoka ekika kino mu 2004 naye ekiragiro kino enkwasisa yaakyo erimu ebituli.
Ababaka bagamba nti obubenje bwombi bulaze obwetaavu eri gavumenti okukomyawo ensonga ya Sipiidi Gavana era bafube okulaba nti buli mmotoka ebeera nazo naddala ezo ezigenda ku nguudo zimwasanjala.
Omubaka wa Bukooli Central, Solomon Silwany, agamba nti ddereeva yasalawo emisinde kwakoma nga kino kyetaaga okusalirwa amagezi.
Ono ayagala Sipiidi Gavana ziddemu okuteekebwa mu mmotoka naddala ezo ezitwala abantu abasoba mu 10.
Omumyuka wa Sipiika , Thomas Tayebwa ategeezezza nti ensonga eno nkulu nnyo nga yeetaaga okusalira amangu amagezi.
Tayebwa asabye Ssaabaminisita okujja mu Palamenti alage gavumenti weeyimiridde ku nsonga eno nga May 12, 2022.