Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyobulimi basabye gavumenti ewe embalirira y’essente zeekozesezza mu kulwanyisa enzige.
Uganda yakasaasanya obuwumbi 267 mu kulwanyisa ezige ezaalumba ebimu ku bitundu by’eggwanga naddala mu buvanjuba n’amumaambuka.
Essente zino ezisinga zeewolebwa okuva mu bitongole eby’enjawulo ngate endala zaaweebwa gavumenti okuva mu bitongole nga World Bank.
Newankubadde gavumenti agamba nti enzige ezaalumba eggwanga sizaabulabe nnyo, egenze mu maaso n’okwewola essente okuzirwanyisa.
Gavumenti yeewola obuwumbi 180; kino akulira akakiiko k’ebyobulimi mu palamenti Grace Okori-moe agamba balina okunoonyereza okuzuula ddala ssente meka gavumenti ze yakwonoonera kukulwanyisa enzige.
Ono yategeezezza nti ng’akakiiko baali balina okugenda mu disitulikiti ezaakosebwa ennyo enzige naye nebalemesebwa omuggalo.
Bwatuukiriddwa minisita avunaanyizibwa ku by’obulimi Vincent Ssempijja yategeezezza nti abakugu basuubira nti eggwanga ligenda kuzindibwa enzige essaawa nyonna.
Kyokka Ssempijja yagasseeko nti bakyetegereza ensonga eno.
Ng’ojjeeko obuwumbi 180 okuva mu World Bank, Uganda yafuna obuwumbi 41 okuva mu European Union, obuwumbi 11 okuva mu gavumenti ya Russia, obuwumbi 9.6 okuva mu ggwanga lya Germany, obuwumbi 3.7 okuva mu Africa Solidarity Trust fund, obukadde 490 okuva mu United States Agency for International Development (USAID), ate obuwumbi 22 gavumenti ya Uganda yeyabuteekamu mukaweefube w’okulwanyisa enzige.
URN