Bya Musasi Waffe
Kampala
‘
Abakugu mu by’obulamu balabudde ku muwendo gwa Ambyulensi eziweebwayo ababaka ogweyongedde kyokka ne bategeeza nti ezimu ku zino teziriimu bikozesebwa, abakugu abalina okuzikolamu wamu n’omukka oguyambako okussa (Oxgyen).
Bano bagamba nti zino mmotoka ng’emmotoka endala era ng’ababaka bazigula kulaga nti balina kye bakoledde abantu baabwe naye tezituukana na mutindo guzisobozesa okutambuza abalwadde. Kino bakitadde ku mbeera y’ebyobulamu esereba mu ggwanga buli lukya ne bagamba nti wadde Ambyulensi nnyingi ku kkubo naye osobola okubulwamu eggwanidde.
Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasawo b’Ambyulensi, Tom Kyobe, y’akakasizza nti ezisinga ku zino temuli bikozesebwa era basanga akaseera akazibu okuzitambulizaamu emirimu.
Kyobe yannyonnyodde nti abantu abali mu Ambyulensi zino abasinga tebasobola wadde okuwa abalwadde obujjanjabi obusookerwako nga kyetaagisizza, n’asaba wabeewo ekikolebwa.
Ono agamba nti wadde Ambyulensi ezikkirizibwa gavumenti zirina kubeera ku ddaala lya ‘Class B’ naye ezisinga ku ziweebwayo ababaka bano teziri mu ddaala lya ‘Class B.’
Kinajjukirwa nti mu 2018, Minisitule y’ebyobulamu yafulumya enkola erina okugobererwa ku nsonga y’Ambyulensi okusobola okutumbula eby’obulamu.
Wabula n’okutuuka essaawa ya leero amateeka agali mu nkola eno gabadde tegayisibwa Palamenti, era Ambyulensi zonna eziri mu ggwanga eziwera 440 tezirina nkola nnambulukufu egobererwa.