Bya Ssemakula John
Kampala
Bangi ku babaka bapalamenti abawanguddwa mu kalulu ka 2021 bakyelemye okuddayo mu palamenti okuteesa wadde nga babadde basabiddwa okuddayo bamalirize emirimu.

Okunoonyereza okukoleddwa omukutu guno kulaze nga omuwendo gw’ababaka bweguli omutono ennyo era nga kino kyavudde ku babaka kumpi ebitundu 60 ku buli 100 okuwangula mu kalulu era nga ebifo byabwe byatwaliddwa abantu abapya.
Ku ntandikwa ya Sabiiti eno, omuwandiisi wa palamenti eno, Jane Kibirige yawandiikira ababaka bonna abatuula ku abatuula ku bukiiko obulondoola ebitongole bya gavumenti nga abasaba okudda nga January 21 ne 22 basobole okumaliriza emirimu naddala egy’okuteekateeka embalirira ya 2021/2022.
Olunaku lw’eggulo ku bukiiko 7 obwa Sectoral Committees obwalina okutuula okutwala mu maaso emirimu, kakiiko ka byatekinologiya kokka kekatudde era nga nekukano abantu ababaka basatu bokka bebasobodde okujja nga abalala tebaliiko.
Obukiiko obulala obwabadde bulina okutuula tebwasobodde olw’ababaka obutalabikako.
Mulutuula lwa palamenti olwawamu olwa sabiiti ewedde, ababaka 186 bokka kwabo 498 abaliyo bebasobodde okweddiza ebifo byabwe ate nga baminisita 21 ebifo byabwe nabo babifiiriddwa.
Ekisanja kya palamenti eno ey’e 10 kirina kuggwako mu mwezi gwa May 2021.








