
Bya Kato Paul
Kalungu – Buddu
Ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko akalondoola embeera y’ebyobulamu benyamidde olw’embeera abasawo mu disitulikiti ye Kalungu gyebakoleramu nebasaba eno eteerezebwe mu bwangu.
Bano ababadde balambula ettundutundu lye Masaka bakizudde nti abasawo mu kitundu kino tebalina bikozesebwa omuli giraavuzi, eby’okwesabika wamu n’omukka gw’obulamu ogusibwa.
Omubaka wa Bukuya Dr.Micheal Bukenya nga yeyakuliddemu banne agamba nti kyenyamiza okulaba nga abasawo mu Kalungu yonna bakozesa emmotoka emu mu kiseera kino ekya COVID-19 kyokka nga eno y’emu ku disitulikiti ezisinga ekirwadde kino.
Bukenya abadde awerekeddwako ababaka abalala okuli; Ssewungu owa Kalungu West, Peace Kyakka Mirembe ow’e Lyantonde ne Hope Grania Nakazibwe ow’e Mubende.
Ate ye Bino bikakasiddwa akulira eby’obulamu e Kalungu Dr.Daniel Ssentamu anyonnyodde nti emmotoka emu gyebaakozesa okulondoola eby’obulamu yakwama dda kyokka nga tebalabanga ku bikozesebwa kwekuuma kirwadde kya Corona ekitadde obulamu bwabwe mu katyabaga.
Omubaka Ssewungu ategeezzza nti bagenda kukola alipoota ku nsonga eno mu bwangu abakwatibwako basobole okusitukiramu ng’ ekiwundu tekinasamba ddagala.









