
Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi y’oku kisaawe e Ntebe bakutte abantu babiri abagambibwa okutembeeya enseenene mu nnyonyi ya Uganda Airlines ebadde egenda e Dubai.
Kino kyaddiridde akatambi akasaasaanidde omutimbagano nga waliwo omusajja atembeeya enseenene ezaabadde mu kiveera ku nnyonnyi ya Uganda Airlines nnamba UR 446 ku Lwokutaano.
Wabula okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, poliisi y’oku kisaawe bano yabakutte nga kuliko; Habibi Kiggundu ne Paul Mubiru.
“Wadde enseenene tezikkirizibwa ku nnyonyi naye ababiri bano baagenze mu maaso n’okusaanukula ekiveera kyabwe ne batandika okutunda enseenene. Kino kyaleeseewo okucamuka mu baabadde ku nnyonyi zino naye ate ne kyesittaza abalala.” Enanga bw’annyonnyodde.
Enanga agasseeko nti wadde omu ku baabadde ku nnyonyi eno basabye Mubiru obutatembeeya Nseenene wabula yagaanye n’agenda mu maaso.
“Bano batadde obulamu bw’abalala mu matigga bwe baggyeeko obukookolo bwabwe ne batandika okwogera. Bagguddwako emisango gw’okweyisa ng’ekitagasa, okugaana ebiragiro awamu n’okukola ebikolwa ebiyinza okusaasaanya Corona.” Enanga bw’alambuludde.
Bino we bijjidde nga Mubiru yaakamala okukola akatambi nga yeetonda ku kikolwa kino n’ategeeza nti yabadde akwata katambi kaakuteeka ku mukutu gwe ogwa Tik Tok.
Okusooka, Minisita w’ebyentambula, Gen Edward Katumba Wamala yalagidde abakozi bonna abaabadde ku nnyonyi eno egenda e Dubai, okuwummuzibwa nga bwe banoonyereza ku nsonga eno.









