
Ensangi zino abantu batono nnyo abafaayo okulaga abaana eng’anda zaabwe abasukka ku taata ne maama. Abafunyeeko omukisa weesanga nga bakoma ku kubalaga bajjajja wamu n’emikwano emitono egibeetoolodde, kyokka omusaayi gwabwe omulala ne batagumanya.
Tusaana tukimanye nti omwana bw’azaalibwa abeera afuuse wa misaayi ebiri (ogwa kitaawe wamu n’ogwa nnyina) era enjuuyi ezo ebbiri zimulinako obuvunaanyibwa bwa kyenkanyi okulaba ng’akula bulungi era bw’anaatuuka mu nsi, enju ezo taliziswaza mu bantu.
Okusobola okunyweza kino, bajjajjaffe baafubanga nnyo okulaba ng’abaana babatambuza mu ŋŋanda enjuuyi zombi, olwo ne basobola okumanyibwa obulungi era nange nzijukira bulungi mu kukula kwange, ng’omukadde omulungi Nalukenge Margaret buli luwummula atuweereza mu booluganda abatali bamu. Oluwummula olumu bwe yatutwalanga ku ludda lwa ssebo, oluddako nga tudda ebukojja.
Abamu bwe bataakolanga ekyo ng’oluusi batambula n’abaana ku mikolo egitali gimu okwabeeranga abeŋŋanda okugeza ennyimbe n’embaga okwo kwe bassanga n’okutegekanga emikolo gy’okumanyagana waakiri buli nkomerero y’omwaka, okumanya abaana abayongeddwako ku famire zaffe.
Abaana okutambuza mu famire ezaffe nga n’obukojja tetubusudde, tekwalinga kubalagayo ab’ekika bakutende nga bwe wazaala abaana abalungi oba abangi. Wabula kyalingamu ebintu ebirala ebisukka ku kumanya ekika kyo era nga ekimu ekikulu kwe kwalinga ng’okwewala abantu abeerinako oluganda okwesanga nga bafumbiriganiddwa wamu n’okusobozesa omwana okukula ng’afunye obukugu n’okugunjulwa okwenjawulo kubanga tukimanyi bulungi nti buli muntu alina ekitone ekyenjawulo ky’ayinza okugabanyizaako abalala.
Ensi gy’ekomye okukyuka/okukulaakulana, abantu bafunye endowooza ennafu nti okubeera ow’omulembe olina kudibya mpisa z’abajjajja bo ne beerabira nti toyinza kumanya gy’olaga nga totegedde gy’ova. Ekivudde mu kino kwe kwesanga wakati mu kukola ensobi ezitali ng’enderere, okuweebuuka wamu n’okuswala era n’okuswazibwa.
Ekyewuunyisa bw’otunuulira ensonga ezitugaana okuweereza abaana mu ŋŋanda zaffe, ow’enjogera ennyangu aziyita zakyewussa, anti abantu basinze kutunuulira mbeera zaabwe ne bazigeregeranya n’ezo ez’abantu bannaabwe. Oli bw’abeera nga alinamu ku ssente, abaana abakuliza ku migaati, ssukaali, basomera mu bisulo, alabira ddala ng’abaana okubaweereza mu kyalo abeera ababonyaabonya. Abalala bakulembeza buyigirize era alaba tayinza baweereza mu kyalo gye batayogera Luzungu, wadde okulaba Terefayina n’ensonga endala ezitalimu nsa.
Embeera eyo w’etuusizza famire ezimu balifa bakirojja!
Omulenzi omu yasisinkana omuwala eyo ku mulimu gye baali bakolera era mu bbanga ttono beesanga ng’omuwala afunye ettu lya Mugema. Abazadde b’omuwala baamuteekanga ku nninga aleete omulenzi nannyini lubuto, asobole okumuggya ku luggya kubanga amaka gaabwe gaali ga ddiini, kale nga muwala waabwe okufunira olubuto ku luggya kyali kyabuswavu.
Olunaku lwakya omulenzi ne yessa mu ddene agende abuuze ku bakadde b’omuwala. Akaseera kaatuuka owoobulenzi n’ayanjulwa ebikwata ku buzaale bwe, baagenda okukoona ku kitaawe, nga mwannyina wa maama w’omuwala. Mu bufunze ng’omuwala gw’aleese ‘kojja we’. Abazadde bombi baabatabukako ne batandika okwetunuulira wamu n’abanywanyi be baali bayise okubaaniririzaako abagenyi. Manya mu kiseera kino bano baali tebakyasobola kweyongerayo n’obufumbo wadde ng’omuwala yali yazitowa dda. Kale weebuuze okola otya?
Oggyamu lubuto oba oluleka? Ye abaaye omwana bw’azaalibwa, obukojja bwe bubeera wa?
Omuvubuka omu yali avuga emmotoka n’atomeregana ne musajja mukulu omu. Olwokuba omuvubuka ono yali waamaanyi mu nsawo wadde ye yali mu nsobi, yavuvuba musajja mukulu nga ye yambisa ssente okugulirira omusirikale w’ebidduka eyali akola ku nsonga zaabwe era ng’omuntu anyigiriziddwa waaliwo okuwanyisiganya ebisongovu mu ngeri emu oba endala.
Liba teriri busa, taata w’omulenzi ono ng’amusaba amukimeko amutwaleko mu lumbe ku mutala ogumu. Ng’omuzadde owoobuvanyizibwa, ekiseera kyatuuka n’atandika okumulaga abantu ab’enjawulo era eno gye baagwira ku musajja mukulu eddenzi gwe lyajolonga oluvannyuma lw’okumutomera.
Eddenzi baalitegeeza nti musajja mukulu ono yali jjajja ow’olunyiriri mwe liva. Eddenzi ebigambo byalikalira ku mumwa kuba n’okubuuza kwagaana. Abaaliwo beebuuza ekireese akabasa era musajja mukulu n’azza munne ebbaali n’alumuviira ku ntono era gye byaggweera ng’omulenzi yeetonze wamu n’okutanzibwa.
Ebyo nno bitono nnyo ku ggwe by’oyiseemu era bye wali olabye n’okuwulirako. Tukole ebituufu mu budde obutuufu, twewale okuswala.
Wangaala ayi Ssaabaasajja
Omuwandiisi musomesa era muluŋŋamya wa mikolo
0702740754









