Bya Samuel Stuart Jjingo
Kibaale – Buddu
Obwakabaka bukubirizza abaana okufaayo okulabirira bazadde baabwe abakuze mu myaka olwo emikisa gibajjire.
Bino byogeddwa, Omumyuka Asooka owa Katikkiro Oweek. Prof. Twaha Kaawaase akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga e Kibaale-Kinoni Buddu ku mukolo gw’okwebaza Katonda olw’obulamu bwa taata wa Minisita wa Kabineeti n’Olukiiko Oweek. Noah Kiyimba, Muzeeyi Kkukumba Francis Kambayaya ow’emyaka 87, ate nga wano wabaddewo n’okujaguza olwa bazzukulu be 12 abamaliriza emisomo era nebatikkirwa mu matendekero agenjawulo. Ku mukolo gwe gumu kubaddeko ikuwa omukisa ennyumba ya Kukumba eyaddaabiriziddwa, okutongoza oluzzi lw’ekyalo Kibaale (community well) n’okusabira Maama Omugenzi Magdalene Kkukumba Nakiwu.

Oweek. Kaawaase akubirizza abazadde okukuza abaana baabwe obulungi baleke kubatabukira nga bakuze, yebazizza ab’ennyumba ya Kkukumba olw’okubeera eky’okulabirako ekirungi.
“Kino kyeyoleka mu nnyumba eno era nneebaza nnyo abaana mu maka gano olw’okufaayo ennyo ku kitaabwe nga bamujjanjaba nga kati bamuzimbidde ne nnyumba mwasula,” Oweek. Kaawaase.
Prof. Kaawaase yebaziza taata w’omumaka gano olw’okukuza abaana nga obuwangwa n’eddiini bwe birambika era nga bino bivuddeyo bulungi mu missa etegekeddwa olwa leero.

“Bayibuli ekirambika bulungi omuzadde kye ki. Tulabye okwagala okuli eri ekika mu nnyumba eno, eri Obuganda awamu n’ebyenkulaakulana. Taata ono ye yatandiika CBS PEWOSA wano nga kati evuddemu amatabi ana (4) bwe ddu,” Oweek. Kaawaase.
Omu ku baana mu nnyumba eno ate nga Minisita wa Kabaka, Oweek. Noah Kiyimba yebaziza nnyo Katonda olw’obulamu bwayiseemu okutuuka kati era attottodde olugendo lwe batambudde bonna paka kati bw’atyo nasiima buli muntu abadde mu bulamu bwa kitaabwe.
Oweek. Kiyimba agamba nti abayizi abasoma basaanidde okutwala emisomo gyabwe nga eky’ettendo kubanga tewali agenda kubalondobayo mu bantu abawerako nga tebasomye era wano akinooganyiza nti wakusisinkana abayizi abasoma ekibiina eky’okuna n’omukaaga bawayeemu ku byensoma yabwe.
Pookino Owek. Jude Muleke asabye bannabuddu obutakiriza kuguliibwa bunyebwa obubaweebwa bannabyabufuzi era abakuutidde okulonda nga tebesigamye ku bikolwa nga bino.
Omutaka Namuguzi nga yakulira ekika ky’Empologoma yebaziza nnyo Mw. Kkukumba olw’okwagala abaana be n’abakuliza mu mpiisa ekibayambyeko okutuuka ku buwanguzi obulinga nga buno.
Akulembeddemu missa Fr. Ssemwogerere Timothy nga ye bwannamukulu w’e Butende yebaziza nnyo taata w’omumaka gano olw’okuzaala obulungi awamu n’okuwerera abaana n’asaba abaana mu maka gano okusobola okujjuliza ebigambo by’omuntu omukukunavu nga Nelson Mandela nti okusoma kw’omuntu kulabikira ku nkyukakyuka gye batonzeewo gye bawangaalira.
Omukolo guno gwetabiddwako ba Minisita ba Ssaabasajja Kabaka; Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, Oweek. Hajj Amisi Kakomo, Oweek. Dr. Anthony Wamala, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Pookino Oweek. Jude Muleke, Kaggo Hajj Ahmed Matovu Magandaazi, Kitunzi Oweek. Fred Mugabi, Omuwandiisi ow’Enkalakalira mu woofiisi ya Katikkiro Omuk. Josephine Nantege Ssemanda, abakungu n’abawereza ab’enjawulo okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, n’abantu abalala bangi nnyo.









