Bya Ssemakula John
Kampala
Omwami wa Kabaka ow’eggombolola y’e Kasanje awamu n’abamyuka be abaggya, batuuziddwa mu butongole okutandika okukakkalabya emirimu gy’Omutanda oluvannyuma lw’okulondebwa gyebuvuddeko.
Omukolo guno gwakoleddwa omwami wa Kabaka ow’essaza lye Gomba, Owek. Celestine Musisi Jackson ku lwa Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki era ne baayambaziddwa ebyambalo okukakasa obuyinza bwabwe.
Bw’abadde akola omukolo guno, Kitunzi Musisi asabye abalondeddwa okusoosowaza ensonga za Buganda n’okuzagazisa abantu gamba ng’Emmwanyi Terimba, emisinde awamu n’enkola y’Oluwalo.
“Mufube okulaba nti enteekateeka z’okukuuma ettaka lya Kabaka mu ggombolola y’e Kasanje era kiyambe okukolerako enteekateeka z’Obwakabaka.” Kitunzi Musisi bwe yasabye
Owek. Musisi yabakalaatidde obutasosola mu bantu wabula banyweze obumu olwo emirimu gisobole okubanguyira.
Ye Ssaabawaali eyalondeddwa ng’ono y’atwala eggombolola eno, Andrew Benon Kibuuka yasanyukidde ekya Beene okumulengera n’amuwa obuvunaanyizibwa buno era n’asuubiza okubutuukiriza wamu n’omumyuka we.
Ono era yasabye Kitunzi okumukwasizaako wamu n’okubalung’amya.
Abalala abeetabye ku mukolo guno nga kwe kwabadde Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika, ne bammeeya b’ebitundu omuli; Kasanje, Kakiri ne Bussi, baliko obubaka bwe baawadde abaatuuziddwa.