Musasi waffe
Abaami b’Amasaza nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe, Jude Muleke Pookino, bayozaayozezza Katikkiro Charles Peter olw’okuweza emyaka musanvu ng’akuuma Ddamula.
Mu bubakabwe, Pookino atwala essaza ly’e Buddu, yeebazizza Katonda
olw’obulamu bwawadde Katikkiro n’amusobozesa okubakulembera obulungi.
“Tukwebaza nnyo olw’enteekateeka zonna omuli eya ‘Mmwanyi Terimba ate n’enteekateeka endala ez’omuggundu ezireeseewo enkyukakyuka mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka mu Buganda ne wabweru wa Buganda,” Muleke bwagambye.
Muleke era yeebazizza Katikkiro olw’okuyimirira mu biseera byonna nga tayuugayuuga.
Agambye nti kino kibawadde ekifananyi ekirungi eky’obukulembeze era n’okubayamba okutegeera obuweereza mu Bwakabaka bwa Buganda kyebutegeeza.
“Njagala okutwala omukisa guno era okukusabira Katonda akw’ongere obulamu obulungi, obuvumu, otukulembere otuukirize bulungi enteekateeka za Ssaabasajja Kabaka zonna zakutuma era naffe tusuubiza nti tunaatambula naawe Katonda nga yemubeezi,” Muleke bwagambye.
Ono era ayagalizza Ssaabasajja Kabaka obulamu obulungi asobole okulamula ensiye Buganda.