Musasi waffe
Pulezidenti w’ekibiina ekigatta Bannayuganda ababeera mu America ne Canada ekimanyiddwa nga Uganda North America Association (UNAA) Henrietta Nairuba Wamala Ssenabulya olwaleero akyaddeko ku Mbuga enkulu e Bulange Mmengo n’asisinkanamu ne Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Mu kwogerako naye, Oweek. Mayiga abakuutidde okujja eby’obufuzi mu kibiina kino kubanga byawulayawula mu bantu.
Mayiga era abasabye balowooze ku ky’okutandika okutereka ensimbi.
“Kola enteekateeka eneesobozesa bannakibiina okubaako kebafissa. Twagala tugambe nti mu 2020 Bannayuganda abeegattira mu kibiina kya UNAA baasobola okukungaanya doola 100,000 nebaziteeka mu kittavvu ekyesigika mu America ng’ekigendererwa kubaako webazisiga eka, nze sifaayo nebwebazisiga mu America kubanga bw’osiga ssente nezitandika okuzaala amagoba era tujja kuganyulwa,” Mayiga bwagambye.
Agasseko nti Bannayuganda balina okutandika okweraba ng’omuntu omu kubanga ebibasoomooza byebimu.
“Bw’ogenda mu Acholi, bw’ogenda e Busoga, bw’ogenda e Kigezi, bw’ojja e Buganda ebintundu ebyo abantu abasinga baavu. Buli kitundu kya Uganda ky’otuukamu eby’obulamu tebisanyusa. N’olwekyo, mulimu gwaffe nga Bannayuganda okulaba nga tufuna ebitugatta. Kale ebyo byetulinako obuzibu fenna lwaki tebitugatta netubisalira amagezi,” Mayiga bwagambye.
Ku lulwe, Nairuba agambye nti basanyufu olw’emirimu gya Katikkiro gyakolera Obuganda. Bwatyo n’asaba amawanga amalala gamulabireko.
“UNAA tulina ebigendererwa eby’enjawulo nga mu bbyo mwemuli okutumbula eby’obuwangwa n’ennono bya Bbannayuganda ab’enjawulo. Tetusobola kukikola kino nga tetulina nkolagana n’Obwakabaka,” Nairuba bweyagambye.
Asabye Katikkiro okuyita mu kitongole kya Kabaka ekya Buganda Land Board, okubayambako mu kulwanyisa ekibba ttaka ly’abantu ababeera ebweru.
Asabye Katikkiro omulundi guno era abeegatteko mu lukungaana lwa UNAA olwa 2020.