
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibalo mu Ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kivuddeyo ne kisambajja eby’okufulumya maapu ya Uganda okutali Buganda nga bayamba nti bino ssi bituufu.
Omumyuka wa Ssenkulu w’ekitongole kino, Dr. Ssennono Fred Vincent Embuga agamba nti ebyogerwa nti maapu eyafulumiziddwa okutali Buganda yavudde mu kitongole ki UBOS bikyamu kuba tebanabeera nanteekateeka kkula kino.
Ono annyonnyodde era n’alaga maapu eyasembyeyo okufulumizibwa okuva gye bali 2024 nga Buganda kweri.
Ayongeddeko nti okusinziira ku mukago gwe balina n’Obwakabaka bwa Buganda mu bintu eby’enjawulo ate tebayinza kuggya Buganda ku maapu nga bakimanyi bulungi nti Buganda kimu ku bitundu ebikola Uganda.
Dr. Ssennono era agamba nti abatambuza maapu eno nga bagikisiba ku Gavumenti nti y’egifulumya banoonya kuteekawo luwonko wakati wa Gavumenti ne Buganda, era bwatyo aweze nti tewali ayinza kuggya Buganda ku Uganda.

Bano baguze n’emijoozi okuwagira enteekateeka z’emisinde gy’amazalibwa ga Kabaka.
Minisita w’Amawulire Okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke mu kwogera kwe yeebazizza nnyo aba UBOS okuvaayo ne bakola okutangaza ku nsonga eno era asinzidde wano n’akubiriza abantu okwewala abasaasanya amawulire agatali matuufu olw’okunoonya obugoberezi ku mitimbagano.