Musasi waffe

Ekitongole ekirwanyisa obulwadde bwa Mukenenya ekya Uganda Aids Commission olwaleero kiwaddeyo cheque ya bukadde 10 okuwagira enteekateeka z’Amatikkira ga Kabaka aga 27.
Cheque eno bagikwasizza ssentebe w’enteekateeka Oweek. David Kyewalabye Male ng’ali wamu n’olukiiko oluteesiteesi.
Mukwogerakwe, Oweek. Kyewalabye ategeezezza nti balina essanyu nti omulamwa gw’omwaka guno gwategekebwa ku kulwanyisa mukenya ngatuyita mu by’obuwangwa.
“Okuva siriimu bweyayingira mu Uganda mu myaka gyekinaana, kaweefube mungi akoleddwa okusomesa abantu era kizibu okusaanga abantu abatamanyi siriimu bwakwatamu okujjako nga yazaalibbwa jjo,” Kyewalabye bweyategeezezza.
Agasseeko nti olugendo lunene olutambuddwa okuva okuva abantu nga bakyalowooza nti siriimu baloga muloge.
“Nga tukozesa obuwangwa bwaffe tulowooza nti tusobola okulwanyisa mukenya. Abaganda basukka obukadde omusanvu ate nga bulina omukulembeze gw’ebuwuliriramu. N’olwekyo kwali kuleengera wala ekibiina kyamawanga amagatte okulengera Ssaabasajja Kabaka kubanga wano mu Buganda Kabaka kyayogera kiragiro,” Kyewalabye bweyagambye.
Kululwe, Dr. Eddie Mukooyo Sefuluya ssentebe wa Uganda Aids Commission, yategeezezza nti beetegefu nnyo okukolagana n’Obwakabaka bwa Buganda mukulwanyisa akawuka ka siriimu wamu n’okusosolebwa.
“Mwenna mbakoowoola okulaba nti obubaka bw’okulwanyisa siriimu butuuka ku bavubuka, abaami, abakyala n’abawala abato mu Buganda. Akawuka kakyali kangi nnyo mu Buganda n’olwekyo tufube nnyo okwongera amaanyi mu kakalwanyisa,” Mukooyo bweyagambye.









