
Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Kampuni ya ‘Spear Motors Group of Companies’ ewaddeyo amazzi gayambeko ku ntegeka y’entikko z’emikolo gy’ olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu mu Buganda olugenda okuzibwa ku Lwomukaaga lwa wiiki eno nga 8, October, 2022.
Bano amazzi bagaleese ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo nga gakwasiddwa Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika.
Ssaabawolereza asiimye aba Spear Motor, olw’okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka nga n’amazzi agaweereddwayo gaamugaso nnyo mu wiiki ey’okukola Bulungibwansi.
Asabye abalala okulabira ku bano, nabo baveeyo bawagire enteekateeka eno ate n’okwenyigiramu obutereevu nga basimba emiti awamu n’okukola Bulungibwansi.
Akulira abakozi mu Kampuni eno, Spear Motor Group Company, Ibrahim Kiwanuka, akulembeddeemu abaleese amazzi embuga agambye nti wiiki ya Bulungibwansi egendereddwamu okutumbula embeera z’abantu.
Wiiki ya Bulungibwansi yatongozebwa ku Mmande ya wiiki eno nga 3 Mukulukusabitongotungo, n’omulamwa ogugamba nti “Tunweze Enkola ya Bulunjibwansi okukuma Obutondebwensi”.
Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka yawaayo olunaku lw’ Ameefuga ga Buganda olwa 8, October buli mwaka okukolerako Bulungibwansi okukuuma obutonde awamu n’okutumbula gavumenti ez’ebitundu.









