• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'Obulamu

Aba Rotary bazimbidde abeetaavu amayumba e Ssese

Gambuuze by Gambuuze
June 20, 2022
in Eby'Obulamu, Ebyenfuna
0 0
0
Aba Rotary bazimbidde abeetaavu amayumba e Ssese
0
SHARES
49
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Beta – Ssese

Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Omuwanika wa Buganda,  Oweek. Robert Wagwa Nsibirwa, atongozza amaka agazimbiddwa aba Rotary club y’e Kalangala, Ssese, mu nkola ey’okudduukirira abo abeetaaga okubeerwa.

Ku mukolo guno ogwabadde e Beta, Mulole mu bizinga by’e Ssese olunaku lwa ggyo, Owek waggwa amaka ya gakwasizza Muky. Nakamaanya Expedito.

Omuwanika yeebazizza nnyo Bannalotale b’e Ssese abakulemberwa Mw. Paul Ssemanda olw’okuggyayo  obulungi ennono ya Rotary nga bayamba abantu awatali ku kulembeza ndowooza ya byabufuzi wadde eddiini.

Agambye nti obugunjufu bw’abakulembeze bupimibwa nnyo ku ngeri gye bakwatamu oba gye bayisaamu abantu abaabulijjo.

Yeebazizza nnyo abatandisi ba Rotary club eno olw’okwolesebwa kwe baafuna ne bagitandikawo ate ne bannyikiza ekinyusi kya Rotary eky’okuyamba abantu abali mubwetaavu.

Yasabye Muky. Nakamaanya okwongera okwerwanako nga alima n’okulunda, asobole okweyimirizaawo, kuba yo Rotary emuzimbidde amaka,  naye okweyimirizaawo buvunaanyizibwa bwe.

Owek. Wagwa yakiggumizza nti ebisoomooza mu nsi bingi, naye tulina kuba bayiiya okulaba engeri gye tubivvuunuka.

Yakoowodde abaweereza ab’ekikugu ku district y’e Kalangala okwegatta ku Rotary basobole okuyambako mu kukyusa embeera z’abantu.

Ye Omukulembeze wa Rotary Club y’e Kalangala Ssese Mw. Paul Ssemanda, yawadde alipoota ku bikoleddwa omuli, okuleeta ekirowoozo eri Bannalotale eky’okujja omuntu omu mu mbeera embi, era mwe mwavudde ebibala eby’amaka ga Muky. Nakamaanya, baatambula mu masomero 2, ne basomesa abaana, okubaagazisa okusoma naddala omwana omuwala, okwewala okunywa ebiragalalagala, ekyali kifuuse ekizibu mu bizinga by’e Ssese, baafuna obugaali 8 obwa abaana abaali tebasobola kutambula.

Omwami w’essaza ly’e Ssese, Owek Augustine Kasirye ategeezeza Katikkiro nti e Ssese bali bumu era kye kibasobozesezza okugenda mu maaso.

Yeebazizza Mw. Paul Ssemanda olw’okutandikawo ekyuuma ky’emmwanyi ky’agambye nti kigenda kwanguyiza abalimi b’Emmwanyi okwongera omutindo gw’ekirime kino mu Kalangala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist