Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi y’eggwanga etegeezezza ng’abatandisi b’ekisinde ekiggya ekya People’s Front for Transition (PFT) balina okusooka okufuna olukusa okuva mu Minisitule y’ebyobulamu nga tebannatandika kutegeka nkung’aana zino.
Kino kiddiridde abakulembeze ku ludda oluvuganya okutongoza ekisinde kye bagamba nti kye kigenda okuggya Museveni mu bukulembeze era ne bategeeza nga bwe bagenda okutandika okukuba enkung’aana mu ggwanga lyonna.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Mmande, omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti wadde bano balina eddembe okukung’aana, balina okusooka okufuna olukusa kuba enkiiko zino zikontana n’ebiragiro ebitangira Ssennyiga Corona.
“Wadde ddembe lyabwe okukung’aana mu mirembe, enkung’aana zonna zikyasibiddwa ab’ebyobulamu kuba ekirwadde kya COVID-19 kikyaliwo mu ggwanga. Engeri yokka gye tusobola okussa ekitiibwa mu ddembe ly’abantu okukung’aana, kwe kulaga obukakafu nti bakkiriziddwa Minisitule y’ebyobulamu.” Enanga bw’agambye.
Mu 2019, kkooti etaputa Ssemateeka yasazaamu akawaayiro nnamba 34 ak’etteeka erifuga poliisi n’ekendeeza amaanyi ga poliisi okulemesa enkung’aana.
Mu ngeri yeemu kkooti etaputa Ssemateeka omwaka oguwedde yasazaamu akawaayiro nnamba 8 mu tteeka lya Public Order Management Act eryali liwa Ssaabaduumizi wa poliisi oba omupoliisi yenna obuyinza okuyimiriza olukung’aana, wadde gavumenti yajulira ku nsonga eno.
Ku nsonga eno, Enanga agamba nti wadde obumu ku buwaayiro bwasazibwamu, naye bakyalina obulala bungi mwe basobola okukolera mu tteeka lya Public Order Management Act.
Enanga awadde Besigye ne banne amagezi okukuba enkung’aana mu ngeri ya ssaayansi oba bayitire ku mutimbagano okwogera n’abantu naye tebagenda kubakkiriza kukuba nkung’aana kusaasaanya Corona.
Ekirindiriddwa kwe kulaba oba bannabyabufuzi bano oba banaatwala okuwabulwa kwa poliisi oba banaddamu okugobagana nga balemeddeko okukuba enkung’aana.