Bya Musasi Waffe
Omukulembeze w’ekisinde ky’ebyobyofuzi ekimanyiddwa nga People Power, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine akukulumidde ebitongole by’ebyokwerinda kukyeyayise okulinyirira eddembe lyabwe, oluvanyuma lw’ebitongole bino okulumba woteri mwebabadde mukakubuga ke Kakiri mu disitulikiti ye Wakiso nebassattulula olukungana lwebabaddemu. Ng’ayita kumukutu ggwe ogwa Twitter Bobi Wine yagambye ku ssawa nga bbiri ezakawungezi eggulo, wooteri mwebabadde yeebulunguddwa abeebyokwerinda nga bagamba nti olukiiko mwebabadde lwabadde lumenya amateeka.
“Bazze nebaggyako amasanyalaze nebalangirira nti olukiiko lwabadde lumenya amatteeka. Naye tubakakasa nti bwebaba balowooza nti ebikolwa bino bigenda tupondoosa tubakakasa nti bitwongera manyi okugenda maaso n’olutalo lwaffe olw’okwenunula,” Bwatyo Bobi bweyagambye. Ye omwogezi w’ekisinde kino Joel Ssenyonyi yategeezeza nti oluvanyuma lw’okulumbibwa, Bobi n’abamu ku banne basobodde okwemulula ne babomba olw’okutya ebyabatuukako mu 2018 mu Arua okuddamu. “Ffenna tuli bulungi kati era tweteekateeka kuddamu kusisinkana mukifo ekirala,”Ssenyonyi bweyategezeza omukutu guno.
Kinajjukirwa nti Bobi Wine n’abamu ku bakulembeze kuludda oluvuganya gavumenti baakwatibwa abamu nebakubibwa bubi nnyo nga kakuyuge w’okujuza ekifo ky’omubaka w’ekibuga kya Arua akomekerezebwa. Ab’ebyokwerinda baalumiriza Bobi Wine nabawagizi ba Kassiano Wadri eyawangula ekifo kino, okukuba emmotoka y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni nebagyasa endabirwamu. Tekyasobose kwogerako na Polissi oluvanyuma lwessimu zaabwe okuvuga nga tebazikwata.