Bya Francis Ndugwa
Kampala
Ekibiina kya National Unity Platform (NUP) kitandise kaweefube okwogereza bannakibiina abasubiddwa okufuna kkaadi baleme kwesimbawo ku lwabwe okwewala obuwanguzi bw’ekibiina okugabanyizibwamu.

Okusinziira ku mwogezi w’ekibiina kino Joel Ssenyonyi batandise okwogera nabo wadde nga tebaatuuka ku nzikiriziganya.
“ Tuli mukwogerezeganya n’abantu bano wadde si byangu kubanga buli muntu kkaadi yali agyetaaga. Naye nga ekyamazima tikeeti yali erina kuweebwa muntu omu. Abamu bakkiriza okudda ebbali era nti tusuubira nti n’abalala bajja kukkiriza,”Ssenyonyi bw’agambye.
Ssenyonyi ategeezezza nti okuva lwebafulumya olukalala lw’abagenda okukwata bbendera yabwe bangi abammibwa kkaadi tebaakyagala era beewera okwesimbawo ku lwabwe.
Kino kyawaliriza abakulira NUP okuteekawo akakiiko katunule mu kwemulugunya kwabwe naye era bangi basigadde si bamativu.
Ssenyonyi anyonyodde nti bano bali mukwogerezeganya nabo naye bwebigaana, ekibiina tekigenda kubeera nakyakusalawo okuggyako obutabawagira.
Ono agambye nti tebagenda kufaayo ku nkolagana gyebalina na kibiina oba omukulembeze wakyo Robert Kyagulanyi naye bakuwagira abo abafuna kkaadi y’ekibiina.
Abeesimbyewo abawerako bavaayo nebalaga obutali bumativu ku ngeri ekibiina gyekyagabamu kkaadi zino nga abamu balumiriza abakulu okulya enguzi.









