Bya Shafik Miiro
Wankulukuku, Kyaddondo
Empaka z’Omupiira gw’Ebika mu kubaka zaggulwawo nga 20/04/2024 era oluvannyuma lwa ssabbiiti nnamba ng’empaka zizanyibwa, bazukkulu ba Mbaziira aba Nnyonyi Nnyange basitukidde mu Ngabo bwe bakubye ab’Emmamba obugoba 21:18 mu mupiira ogubadde ku Kisaawe e Wankulukuku.
Waasoosewo omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu ab’Engeye mwe bakubidde ab’Enjovu ku bugoba 35:25, bwetyo Engeye n’ekwata ekifo eky’okusatu.
Abawanguzi ab’Ekika kya Nnyonyi Nnyange bakwasiddwa Engabo n’ensimbi obukadde 7, ab’Emmamba abakutte eky’okubiri bafunye obukadde 5, ab’Engeye abakutte eky’okusatu obukadde 3 ate abaakutte eky’okuna ab’Enjovu obukadde 2.Nantongo Joan owa Nnyonyi Nnyange ye muzannyi eyasinze okwolesa omutindo omulungi mu mpaka, ate Nassanga Shadia ow’Enjovu ye yasinze okuteeba ggoolo era yateebye ggoolo 168 mu mpaka zonna.
Oweek. Prof. Kaawaase Kigongo Omumyuka Asooka owa Katikkiro n’Omutaka Kidimbo nga yaakiikiridde Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, be bakwasiza abawanguzi ebirabo nga bali wamu ne Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka nga yeddira Nnyonyi Nnyange abaddewo nga bakwasibwa engabo, Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo ne Oweek. Hajj Sulaiman Magala Katambala, Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka Empaka z’Omupiira gw’Ebika.