
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Abakulembeze b’Abayizi mu masomero ga Siniya ag’enjawulo ab’ekibiina ki Nkobazambogo Akalibaakendo babanguddwa ku mpagi enkulu ez’ obuweereza n’ obukulembeze obutuufu.
Omusomo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano era wano Minisita w’Abavubuka Owek. Robert Sserwanga yaguguddewo naabasaba okwettanira obukulembeze.
Owek. Robert Serwanga agambye nti bulijjo obukulembeze buyamba omuntu oyo abutegedde okutambulira mu kkubo entuufu n’okutuukiriza ebyo ebimusuubirwamu.
Minisita atenderezza abaana abawala abenyigira mu bukulembeze bwa Nkobazambogo era n’abasaba obutakomya bukulembeze mu masomero wabula beyongereyo ne mitendera egisingako.

Wano era akubirizza abavubuka okwenyigira mu bijaguzo by’Amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 70 agasembedde era kino mu bibiina bya Nkobazambogo yonna mu masomero wabeewo enteekateeka ey’okujaguza ekkula lino.
Minisita Serwanga ategeezeza nti Minisitule yakwongera okutuuka mu masomero ag’enjawulo okuggumiza ekibiina kya Nkobazambogo naddala okulaba nga bammemba baakyo bakola emirimu egiggyayo ekitiibwa kya Buganda.
Omukiise wa Nkobazambogo mu Lukiiko lwa Obuganda era omu ku basomesa b’ olunaku, Owek.Rashid Lukwago abasabye okukulembeza empisa ez’obuntubulamu mu buweereza, ate ne mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.

Ssentebe wa Nkobazambogo mu Ggwanga Omw. Lubyayi Adrian akubirizza Bannankobazambogo okufaayo okumanya ebikwata ku Buganda nga bakola okunoonyereza n’okwebuuza kibayambe okulwanirira Buganda yaabwe nga bagitegeera bulungi.
Abasabye okufaayo okukuuma Obuwangwa n’Ennono zaabwe n’okulwanirira ekitiibwa kya Nnamulondo.
Ye Ssentebe wa Nkobazambogo Akalibaakendo Omuky. Nansubuga Shaluah yeebazizza Obwakabaka ne Minisitule olw’enteekateeka eno gy’agambye nti yakuyamba nnyo Bannankobazambogo okwongera okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu bukulembeze bwe balimu.
Bano babanguddwa mu misomo egy’enjawulo nga; ebyafaayo bya Buganda, eby’ekibiina ki Nkobazambogo, n’ennyingo z’obuweereza mu Bwakabaka, enneeyisa y’omukulembeze mu ssomero n’Ebweru w’essomero, awamu n’ ensonga endala.