Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) kyaagala Minisita w’Ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni alekulire nga kigamba nti alemedde okutambuza obulungi emirimu gye.
Okwogera bino, bano basinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwebatuuzizza e Nalukolongo mu Kampala nebalaga nti ku mulembe gwa mukyala wa Pulezidenti Museveni ebyenjigiriza byongedde okuseraba ekikakasa nti ebintu bimulemye.
Aba NEED era baagala ebikwekweto ku bannansi naddala aba booda booda, abatembeeyi biyimirire basobole okunoonyeza abaana baabwe ebisale byessomero badde ku ssomero kuba bakizudde nga bangi ku bano bakyaali waka.
Ssaabawandiisi wa NEED, Asman Odaka, ategeezezza nti gavumenti eremeddwa okukola omulimu gwaayo era yesinze okuvaako ebizibu kuba wadde eyagala okugerekera amasomero ebisale naye ate ebikozesebwa nga amafuta bikyali waggulu ate eraga nti tefaayo.
Omwogezi wa NEED, Moses Matovu agamba nti okutegeera nga ebintu byasoba omuntu yeetaaga kutunuulira ntunula y’abazadde ennaku zino nga abasinga tebamanyi bwebagenda kusobola kuzza baana babwe ku masomero.
Matovu annyonnyodde nti nga NEED baagala gavumenti ereme kuteeka musolo ku bintu ebikozesebwa ku masomero kyanguyiza ababyetaaga okubifuna.
Wabula bano bategeezezza nti bakkiriza era bawagira enteekateeka y’okugezesa abayizi nebabeera nga tebayitira ku bibuuzo byokka nga n’ebintu nga ebitone nabyo birina okubaako byebigatta ku kuyita kw’abayizi.
Bino webijjidde nga Palamenti eyise Minisita w’Ebyenjigiriza ataanye ku nsonga ze byavudde mu bigezo byekibiina ekyomusanvu ebyakoleddwa obubi naddala mu bayizi abaliko obulemu .