Omwogezi w’eggye ly’ eggwanga elya UPDF Brig Gen. Flavia Byekwaso, afulumizza ekiwandiiko nga alaga nga abajaasi b’ eggye ekuumabyalo erya LDU bwebamaliriza okuddamu okutendekebwa era nga bano bakudda ku mirimu wadde nga bakukola kiro kyokka.
Bano bakuyambeko poliisi okukendeeza obuzzi bw’emisango obugambibwa okuba nga bubadde bweyongedde naddala mu budde bw’ekiro.
“ Aba LDU tebajja kuddamu kukola misana, era tebajja kwenyigira mu kukwasisa ebiragiro bya pulezidenti ebitangira ekirwadde ki COVID19”, Byekwaso bweyategezezza.
Okusinziira ku kiwandiiko kino, aba LDU bakwenyigira mu bikwekweto ebinaaba bikuliddwa ebitongole ebikessi singa banaaba bayitiddwa poliisi y’eggwanga okubaako ne kyebayamba.
Kinajjukirwa nti abantu abasoba mu 10 beebakafiira mu bikwekweto bya LDU nga bakwasisa ebilagiro bya covid19 era abamu ku bagenzi kuliko; Heedimasita w’e Mukono Eric Mugira ne Margret Nanyunja eyali omutuuze w’e Kyengera.
Brig. Byekwaso yanyonyodde nga abakulembeze abawerako bwebazze nga babatuukirira nga beemulugunya ku buzzi bw’emisango obweyongedde mu bitundu byabwe naddala mu budde mukiro.
Ono yalaze nga bwebaalina okusooka okutwala aba LDU bano abawera 6000 mu Baalakisi ye Kakiri okuddamu okubatendeka naddala ku ngeri y’okukwatamu abantu n’eddembe ly’abwe.
URN








